Bya Stephen Kulubasi
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Owek Charles Peter Mayiga, agumizza Abaganda ku ttaka lya Mayiro n’akakasa nga bwe watali muntu agenda kubaako wa litwala kubanga buli kikolebwa kiri mu mateeka.
“Abaganda tuleme kutya nnyo tewali agenda kwetikka ttaka lyaffe ku mutwe alitwale, amateeka gonna ag’ekimpatiira aganaayisibwa ekiseera kijja kutuuka tugatereze.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mu Lukiiko lwa Buganda olutudde amakya ga leero ku Mmande, okuyisa embalirira y’Obwakabaka eweza obuwumbi bwa Uganda 121 ezinaasobozesa okutuusa empeereza ez’enjawulo ku bantu ba Ssaabasajja Kabaka.
Kino kiddiridde Pulezidenti Museveni okuvaayo n’ayogera ku ttaka lya Mayiro ng’agamba nti enkola eno si nnungi era tamanyi lwaki Abaganda bajagala kuba emirimu emivuyo. Wabula Kamalabyonna Mayiga agamba nti bino bya kwekwasa kuba yawa dda gavumenti ekikolo n’eddagala ku ngeri gy’esobola okumalawo emivuyo ku ttaka.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, zino kuliko; okutereeza woofiisi z’ettaka mu ggwanga, okussa embavu mu poliisi y’ettaka gy’agambye nti nnafu ekiyitiridde n’okulinnya abakungu ba gavumenti ku nfeete abagufudde omuze okugula ettaka nga bakimanyi nti gavumenti egenda kulikozesa olwo ne bagiriguliza ku buseere.
Owek. Mayiga agamba nti ettaka teryeyongera era likaddiwa so nga omuwendo gw’abantu gulinnya buli kadde n’asaba abalina ettaka okwettanira okulumba ebisolo, kibayambe okuliikiriza ettaka lye balina.
Ono agamba nti eby’obufuzi birina okuggyibwa mu nsonga z’ettaka era n’asaba wabeewo ennongoosereza ezikolebwa mu ngeri emisango gy’ettaka gye giwozesebwa kubanga gino gimala ebbanga ddene mu kkooti ekiremesa abantu okufuna obwenkanya.
“Enkola y’ettaka eya mayiro yadde ekitongole kya Buganda Land Board si y’ensibuko y’enkaayana ku ttaka ng’abamu bwe balowooza kubanga ebintu bingi ebituukiddwako mu nkola eno. State House Entebe oluggya lwonna ttaka lyaffe erya mayiro wadde tebatusasulanga naye nga yazimbibwa? Makerere nga weeri?” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.
Ku nsonga y’engabana y’ebifo mu Kabineeti y’omulundi guno, Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti Buganda tetunuulidde mawanga naye beetaaga kimu kulaba ng’empeereza ez’enjawulo zituuka ku bannansi.
Ono era asabye abalondeddwa ku bwaminisita okukolera abantu basobole okulaga obusobozi bwabwe eri abo ababadde babanyooma.
Kamalabyonna alabudde bannayuganda ng’ekirwadde kya Ssennyiga Corona bwe kikyaliwo era n’asaba abantu okwongera okwekuuma.