
Bya Musasi waffe
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama, akizzeemu nga bwebatanaba kukkiriza kibiina ki ‘NUP’ kukozesa langi mmyufu kuba si yaakyo.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’akakiiko kano mu Kampala ku nteekateeka y’akalulu ka 2021, Byabakama agambye nti ekibiina ekikulemberwa Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) kituufu kyasaba okukyusa langi naye nebagaana kubanga langi emmyufu erudde nga ya kibiina ki UPC.
“Twabagamba era nga n’etteeka liraga bulungi, bwoyagala okukyusa ekibiina, mu mateeka okukkiriza akakiiko k’ebyokulonda kamala kulanga mu ‘Uganda Gazette’ naye si bwekyali ku kibiina ki ‘NUP’ kubanga kyebasaba tetwakikkiriza, Byabakama bweyategezezza.
Ono anokoddeyo akawaayiro nnamba 11 ak’ etteeka erifuga ebibiina by’ebyobufuzi akagamba nti okukyuka kw’ekibiina oba okukyusa mu bubonero ne langi zaakyo kutandika amangu ddala nga akakiiko k’ebyokulonda kamaze okukkiriza ebikyuusiddwa.
Wabula bannakisinde ki People Power, bakalambira nti langi zabwe ziri ssatu okuli; Bulu, emmyufu n’enjeru naye nga bakulembeza mmyufu kubanga tewali alina buyinza ku langi yonna.
Byabakama era yakakasizza nga bwewaliwo bammemba ba ‘NUP’ abawandikidde akakiiko k’ebyokulonda nga beewunya engeri ekibiina kino gye kyakyusaamu erinnya awatali kugoberera mateeka era nga bakasaba katereeze ensobi ezaakolebwa.








