Bya Francis Ndugwa
Kampala
Poliisi y’eggwanga evuddeyo n’etangaaza ku byogerwa bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) nti bano lwe baakoze ekikwekweto baabuzeewo ne ssente z’ekibiina ezisoba mu bukadde 20 awamu n’emikono egisemba Omubaka Kyagulanyi okwesimbawo ku bwapulezidenti.
Omwogezi wa Poliisi, Fred Ennanga, agambye nti bino si bituufu kubanga aba NUP abamu bagamba bwali obukadde 23 ate abalala bagamba musanvu ekiraga obutakwatagana mu bigambo byabwe.
“Waliwo abagamba nti twabbye emikono gya NUP, naye aba NUP baveeyo n’olukalala lw’ebintu bye bagamba bye twabbye naffe tulina olwaffe, omulamuzi ajja kutulamula,” Ennanga bw’alambise.
Kino kiddiridde ekikwekweto poliisi kye yakoze ku Lwokusatu ku kitebe kya NUP e Kamwokya n’ekwata abamu ku bannakibiina awamu n’okutwala ebimu ku byambalo by’ekibiina poliisi by’egamba nti bifaanana eby’amagye.
Ennanga agambye nti kino kigendereddwamu kwonoona kifaananyi kya poliisi y’eggwanga naye ng’aba NUP bye boogera tebiriiko mutwe na magulu.
Ku Lwokusatu oluvannyuma lw’ekikwekweto kya Poliisi, Omwogezi wa NUP, Joel Ssenyonyi yategeezezza bannamawulire nti wadde emikono egiwerera ddala 7000 gyali gitwaliddwa Poliisi, naye Bannayuganda abaagibawa baali bakyaliyo era nti bajja kuddayo bagifune.
Ssenyonyi yannyonnyodde nti bagenda kukwatagana ne bannamateeka baabwe okulaba ekiddako kubanga tebayinza kukkiriza bumenyi bw’amateeka kugenda mu maaso.
Ono yalaze nti, bino byonna byabadde bigendereddwamu kulemesa Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwesimbawo naye n’agumya bannayuganda ng’ono bw’agenda okwesimbawo awatali kulemesebwa.
Kinajjukirwa nti ku Lwokusatu poliisi era yakola ekikwekweto ku bantu bonna ababadde batunga, abatunda n’okusaasaanya ebyambalo bya NUP era nga bano abasoba mu 30 baamaze dda okusimbibwa mu kkooti.