• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Tetugenda kukoowa kubanja bintu bya Buganda ebyatwalibwa – Owek. Kyewalabye

Gambuuze by Gambuuze
October 28, 2020
in Agafa e Mengo
0 0
0
Tetugenda kukoowa kubanja bintu bya Buganda ebyatwalibwa – Owek. Kyewalabye
0
SHARES
44
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Bugerere

MINISITA w’obuwangwa ennono olulimi n’ebifo eby’enkizo mu Bwakabaka bwa Buganda, David Kyewalabye Male, aweze obutakoowa kubanja bifo bya Buganda eby’enkizo ebizze bitwalibwa abantu ssekinnoomu era n’alabula nti bino baakubinunula.

Owek. Kyewalabye Male nga bamulambuza ebifo ebiri ku biyiriro

Bino Owek. Kyewalabye abyogeredde ku biyiriro by’e Kalagala mu Kayunga mu ssaza ly’e Bugerere leero ku Lwokubiri,  bw’abadde mu kaweefube w’okulambula, okukuuma wamu n’okutumbula ebifo by’obuwangwa n’ennono mu Buganda.

Kyewalabye agambye nti emirimu  gy’okukulaakulanya ebiyiriro bino baakugitandikira ku kitundu ekisigaddewo olwo balyoke babanje ebitundu ebyabawambibwako

“Waliwo amaloboozi agalaga nti ekifo kino kyali kinene era nekituwambibwako. Mu nkola ey’Obwakabaka, tutandika ne kye tulinawo naye tekitugaana, Kabaka yatugamba tetukoowa kubanja bintu byaffe,” Minisita Kyewalabye bw’agambye.

Owek. Male yeebazizza abataka b’oku kitundu era n’ajjukiza abatwala erimu ku ttaka lino nti nalyo lya Buganda era balina okukimanya nti nebwebuliba ddi ettaka lino bajja kulinunula.

Minisita Kyewalabye ategeezezza nti ekifo kino kiriko ensonga z’ebyobuwangwa n’ennono era nga kyankizo nnyo eri abantu ba Buganda ng’abamu bawanuuza okuba nga birimu amaanyi agabayamba mu bulamu bwabwe.

Annyonnyodde nti bagenda kutuula n’abatuuze abali mu kitundu kino bateese ku kye balina okukolera mu kifo kino, buli ludda lusobole okuganyulwamu.

Ssenkulu wa Buganda Heritage and Tourism Board, Nnaalinnya Carol, asiimye abatuuze olw’okufuba okukuuma ekifo kino era n’alaga ng’Obwakabaka bwe bugenda okusitukiramu okutumbula ekifo kino kisobole okuyingiza ssente mu ggwanika wamu n’okufunira abatuuze emirimu.

Owessaza ly’e Bugerere, Mugerere James Ssempigga, agambye nti, ekifo kino kibadde kimanyiddwa okuva ku mirembe Emicwa era ng’alina essuubi nti kigenda kuyamba abantu b’essaza lino.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist