![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/03/Museveni-on-covid-2.jpg)
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akawungeezi kaleero ayisizza ebiragiro ebikambwe okusobola okuziyiza okusaasaana kw’akawuka ka kolona.
Mubiragiro byayisizza kwekuli okuyimiriza emmotoka zonna okutambula okuleka ez’ebitongole by’ebyowkerinda, wamu ne ambulensi.
Museveni are alangiridde kafyu mu ggwanga lyonna okuza saawa emu eya kawungeezi okutuuka emu ey’olweggulo, ng’abantu abo bokka abakkirizibwa okutambula beebo abakola mu bitontgole ebirekeddwawo wamu n’abatunda mu maduuka g’eby’okulya.
Amaduuka gonna agatunda ebitali byakulya galagiddwa okuggalawo ssaako galagi za mmotoka wamu ne saluuni okumala ennaku 14.
“Akawuka kano kazibu nnyo, tetuyinza kukkakiriza kusaasaana kubanga tetujja kusobola kukajjanjjaba,” Museveni bweyagambye.
Yagasseeko nti ekimukozesezza kino bwebutagoberera biragiro nga bweyabiyisa.
Yagambye bweyalangirira emmotoka z’olukale zonna okukomya okutwala abantu, abalina ez’obwannayini nebasalawo okuzifuula ez’okutambuza abantu.
Museveni yaweze ne bannabyabufuzi okusondera abantu emmere n’alagira poliisi ebakwate ebagguleko ogw’okugezaako okutta abantu.
Yayongeddeko nti gavuemntiye egenda kugabira abantu abatalina byakulya emmere omuli akawunga, ebijaanjaalo, amata n’ebirala.
Museveni era yagambye nti bagenda kwogeraganyaamu ne zi banka wamu n’amakampuni agakola ku masanyalaze wamu n’amazzi okulaba ng’abantu tebasalibwako lwamabanja.
Omuwendo gw’abantu abalina kolona mu ggwanga guweze 33.