• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obulimi

Temweyingiza mu mirimu gya KCCA- Kaawaase eri bannabyabufuzi;

Gambuuze by Gambuuze
January 31, 2020
in Eby'obulimi
0 0
0
Temweyingiza mu mirimu gya KCCA- Kaawaase eri bannabyabufuzi;
0
SHARES
32
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Oweek. Kaawaase ngalagibwa ebikolebwa e Kyanja

Musasi waffe

Omumyuka wa Katikkiro asooka era minisita avunaanyizibwa ku by’emirimu ne tekinologiya Oweek. Twaha Kigongo Kaawaase akangudde ku ddoboozi nategeeza bannabyabufuzi okukomya okweyingiza mu mirimu gy’ekikugu egikolebwa ekitongole ekiddukanya ekibuga ky’eggwanga ekikulu ekya Kampala Capital City Authority [KCCA].

Bwabadde mu kulambula ennimiro ya KCCA ey’omulembe emanyiddwa nga Kyanja Agriculture Resource Center e Kyanja mu Ssaza ly’eKyaddondo Kaawaase ategeezezza nti okweyingiza mu mirimu gy’abakugu kizingamizza nnyo entambuza y’emirimu mu Kibuga.

“Twegayirira bannaffe abali mu by’obufuzi nti tuleke abakugu bateeketeeke. Kirungi tubawabule naye tuwulirize nnyo abakugu nga bateekerateekera ekibuga kyaffe. Bwotawuliriza mukugu ojja kutomera,” Kaawaase bwagambye.  

Ayongeddeko nti okwagala obululu kuleese akavuyo mu kibuga nga buli KCCA lwegezaako okulungamya emirimu gy’abantu ab’enjawulo okuli aba takisi, aba aboda boda nga bannabyabufuzi babalemesa.  

 “Bwetunaabaleka nebakola emirmu gyabwe bajja kuteekerateekera ensi eno. Naffe be bateekerateekera tulekeraawo obubbi, ndaba obupande obulaga amannya g’enguudo nga babubbye,” Kaawaase bwagambye.

Asabye abantu ba Kabaka okugenda e Kyanja bayige engeri gyebakolamu emirimu egy’enjawulo basobole okwejja mu bwavu.

Omukugu wa KCCA Galukande Esau nga anyonnyola ku nnima ey’omulembe

Asiimye nnyo aba KCCA okuba banywanyi b’Obwakabaka nategeeza nti Buganda gwe mutima gwa Uganda ng’ekigikwatako butereevu kiba kikutte ku Uganda.

Tulina okutambulira awamu ng’Obwakabaka bwa Buganda n’ekibuga ekikulu eky’eggwanga nga tuweereza abantu abawangaalira mu kibuga kino,” Kaawaase bwagambye.  

Ku lulwe, Ssenkulu wa KCCA Yinginiya Andrew Kitaka agambye nti basanyufu olw’enkolagana gyebalina n’Obwakabaka.

“Tubeebaza olw’obuwagizi bwemuwa KCCA, emirimu tukola mingi era gavumenti ya Buganda tujja kugyetaaga nnyo mu bintu bingi byetukola. Mwebale okutuwagira era kansuubire nti tujja kugenda mu maaso nga tukolagana bulungi,” Kitaka bwagambye.

Omukolo gwetabiddwako minisita Henry Ssekabembe Kiberu w’ebyemizannyo, abavubuka n’okwewummuza, Oweek. Amis Kakomo minisita omubeezi atwala eby’obulimi n’Obweggassi ne Kaggo, omwami w’essaza lye Kyaddondo Agnes Nakibirige Ssempa.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist