
Bya Shafic Miiro
Bulange – Mmengo
Minisita w’Amawulire n’Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe alabudde bannamawulire obutamala gawandiika naye basooke kunoonyereza era essira balisimbe ku kituufu.
Okulabula kuno Minisita Kazibwe akukoledde mu Bulange e Mmengo bw’abadde asisinkanye abakulira omukutu gw’ Amawulire ogwa BBEG Media ku Lwokubiri.
Owek. Kitooke annyonnyodde nti kino kyabulabe era kitattana omulimu gw’Amawulire era kisobola okusuula abakikola mu kabi.
“Bannamawulire naddala abali ku mitimbagano tubakubiriza obutamala gafulumya buli kye baagala wabula balage obukugu mu kye bakola nga basooka kwekenenya, okunonyereza, n’okusunsula ebyo bye bagenda okuweereza eri abantu” Minisita Kazibwe bw’ategeezezza.
Owek. Kazibwe annyonnyodde nti Obwakabaka bwagala nnyo okukolagana na buli muntu wabula oyo yekka ateekebwamu obwesige okukolagana naye alina okuba ng’ategeera Ensonga Ssemasonga ettaano (5) era ng’azikolerako nga ne by’akola bigenderera kusitula mbeera za muntu wa bulijjo.
Aba BBEG Media nga bakulemeddwamu Ssenkulu w’ekitingole Omw. Kiggundu Edris, beeyamye okutambulira awamu n’Obwakabaka okwongera okumanyisa abantu ba Nnyinimu ebifa embuga.
Ono abadde awerekeddwako; Omw. Kibalizi John akulira entambuza y’emirimu ne Mw. Kyeyune Noah Omususunzi omukulu mu kitongole kino.
Kinajjukirwa nti BBEG Media kitongole ky’Amawulire ekikolera emirimu gyakyo ku mitimbagano nga Website, YouTube n’emirala









