• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Temuva ku Mmwanyi, mwongere okugirima  – Minisita Mayanja Nkalubo

Gambuuze by Gambuuze
November 5, 2024
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
Temuva ku Mmwanyi, mwongere okugirima  – Minisita Mayanja Nkalubo
0
SHARES
30
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafik Miiro

Bulange – Mmengo

Minisita w’ Amazzi, Obutondebwensi ne Bulungibwansi, Owek. Mariam  Nassejje Mayanja Nkalubo asabye abantu  okusigala nga balima emmwaanyi beesonyiwe abo abaagala okuzibagobako.

Obubaka buno abuwadde atikkula Oluwalo kulwa Katikkiro okuva mu Balyannaka ne Bannabuluuli e Bulange Mmengo ku Lwokubiri.

“Omweyogereze takusuuza kayanzi ko, ate n’anaakugoba ku nswa, nti tolya omulalu, abalabyeko ku mmwanyi mulabyeko era ababadde tebannalozaako nabo bali mu nnimiro basimba mmwanyi n’olwekyo tubakubiriza mugende mu maaso mulime emmwanyi era muzirime bulungi Owek. Nkalubo bw’agambye.

Owek. Mayanja abakuutidde okufaayo ennyo ku mutindo gw’emmwaanyi, nga bazirabirira, okuzifukirira mu biseera eby’omusana, n’okuzaanika obulungi olwo bongere okuziganyulwamu era bakulaakulane.

Minisita Nkalubo era akubirizza abantu ba Buganda okweyambisa ekiseera kino eky’enkuba okutereka amazzi nga basima ebidiba okugalembeka gabayambeko mu biseera eby’omusana naddala mu mwezi gwa Gatonnya ogusembedde.

Owek. Nkalubo abantu abannyonnyodde ku mugaso oguli mu kufaayo ku nsonga y’Obutondenwensi nga beewala ebyo ebikosa emigga, ennyanja n’entobazzi kubanga bino bisimbira ddala mu buwangwa n’ennono za Buganda.

Ye Minisita  w’Amawulire n’Okukunga, Owek. Israel Kazibwe Kitooke kulwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Joseph Kawuki, akubirizza abantu okukuuma ettaka lyabwe era bafube okulikolerako kibayambe okulitaasa ku basaatuuusi.

Owek. Kitooke  era akunze abalimi okutassa mukono basigale nga balima emmwaanyi era nalabula ne bannabyabufuzi obutamala googera bigambo kubanga ebimu bisobola okwawula mu bantu n’okusuula eggwanga mu buzibu.

Omwami w’Essaza Buluuli, Owek. Kimbugwe Ssonko Robert  kulwa banne bakulembedde okukiika embuga yeeyamye okugenda ku maaso n’okuleeta oluwalo basobole okuwagira emirimu gya Nnyinimu.

Eggombolola musanvu (7) zeezivudde e Bulemeezi ate nnya (4) neziva  e Buluuli era muno mubaddemu Bannaddiini, Abakulembeze mu Gavumenti eya wakati, abaana ab’amasomero n’abantu ba Kabaka abalala era bonna wamu baleese omugatte gwa bukadde 46.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist