Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Minisita w’ettaka n’Ebizimbe mu Bwakabaka, Oweekitiibwa Daudi Mpanga, agguddewo omusomo gw’ebyamateeka ogutegekeddwa ekitongole ky’Obwakabaka eky’ebyamateeka ki Buganda Royal Law Chambers, eri abakozi b’Obwakabaka. Omusomo guno gutunuulidde omulamwa gw’Obusika n’okukola ekiraamo.

Oweekitiibwa Mpanga asabye abaweereza b’Obwakabaka obutatya kukola kiraamo nti bagenda kufa, si buli akola ekiraamo nti afiirawo, wabula ekisinga obubi kwe kufa nga tolaamye olwo eby’obugagga byo abantu abatalinaako mugabo nebabyegabanya.

Minisita Mpanga, ayozaayozezza Buganda Royal Law Chambers okuweza emyaka 6 mu buweereza bwe by’amateeka eri abantu obwakabaka n’Abantu ba Buganda, n’annyonnyola nti mu myaka 6 ekitongole kino kisobodde okutaasa ensimbi ezisoba mu buwumbi buna n’ekitundu (4.5bn), ezandisasaanyiziddwa ku misango n’entambuza y’emirimu ku nsonga z’amateeka.









