Bya Stephen Kulubasi
Masengere
Minisita w’Obwakabaka bwa Buganda avunaanyizibwa ku bavubuka eby’emizannyo n’okwewummuzaamu, Owek. Henry Ssekabenbe Kiberu, awanjagidde abeesimbyewo okukiikirira abavubuka mu Buganda wamu n’abali mu gavumenti, okwewala okuyingiza ssente mu kalulu kano.
Bino Owek. Ssekabembe abyogeredde ku Masengere bw’abadde aggulawo okukubaganya ebirowoozo wakati w’abavuganya ku kifo ky’omubaka anaakiikirira abavubuka mu kitundu kya Buganda leero ku Mmande.
“Temuteeka ssente mu kalulu k’abavubuka kubanga kijja kutta eggwanga. Abalonda mugoberere busobozi kiyambe okufuna abantu abanaakolera eggwanga.” Minisita Ssekabembe bw’agambye.
Owek. Ssekabembe era akuutidde oyo yenna anaabeera eyiseemu okubeera omukozi, yeewale okukozesebwa ate alwanirire enfuga etambulira ku mateeka, abalonzi basobole okumufunamu.
Minisita atenderezza omutindo gw’abeesimbyewo n’asuubiza okubanoonya era akolagane nabo kubanga Buganda erina omulimu gw’okuteekateeka abakulembeze naddala abavubuka basobole okuvuganya ku mitendera egy’enjawulo ne Buganda esobole okukula.
Minisita Ssekabembe asabye abeesimbyewo okufaayo bakolere abavubuka baleme kulowooza ku kya kwegaggawaza era n’asaba abalonzi okufaayo balonde omuntu anaabakolera nga tebafuddeyo ku ggwanga lyabwe kasita babeera nga bassa ekitiibwa mu Ssaabasajja Kabaka.
Ate ye Ssenkulu wa BBS Terefayina, Omuk. Patrick Ssembajjo, agambye nti kino bakikoze okuddiza abantu ababawagidde. Kino bakikoze okulaba nga Buganda efuna omukulembeze eyeeteeseteese obulungi asobole okukolera abantu ba Kabaka.
Ye ssentebe wa Buganda Youth Council, Baker Ssejjengo, asabye abeesimbyewo okulondoola embeera y’abavubuka basobole okukyusa obulamu bwabwe nga bamalawo ebbula ly’emirimu wamu n’okutereeza embeera zaabwe.
Mu kabbinkano kano, abeesimbyewo okubadde; Kasule Moses owa NUP, Kasumba Gyaviira owa FDC, Ziritwawula Abdul, Mike Katongole, Ivan Bwowe, ne Ssenyonga Simon obwedda basoyebwa ebibuuzo ku nsonga ez’enjawulo. Omubadde ekirina okukolebwa okuzza Buganda ku ntikko, ebyenjigiriza, ebbula ly’emirimu awamu n’obuvunaanyizibwa bwabwe olwo ne battunka nga buli omu addamu ekibuuzo.
Wabula wadde abavuganya bali 8, babiri ku bano okuli; Alvin Semambya ne Agnes kirabo bo tebalabiseeko.
Abeetabye mu kabbinkano kano bategeezezza nga bwe baluubirira okutereeza etteeka erirung’amya okulonda kw’abavubuka, okukola ku bbula ly’emirimu, okukendeereza omusolo ku bayiiya n’abatandisi b’emirimu wamu n’okunyweza obumu, okusobola okutwala Buganda ku ntikko nga banyweza ensonga Ssemasonga naddala eya Federo.
Akabbinkano kano kabadde kaweerezebwa butereevu ku BBS Terefayina ne CBS FM era nga kawomeddwamu omutwe aba Buganda Youth Council n’ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation, okufuba okulaba nti abavubuka mu Buganda bafuna obukulembeze obwo bwennyini bwe beetaaga.