Bya Ssemakula John
Butambala
Minisita wa Kabaka ow’emizannyo abavubuka n’okwewummuza, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, asabye abavubuka okukomya omuze gw’okusabiriza bannabyabufuzi kubanga omulimu gwabwe ogubalondesa.
Owek. Ssekabembe bino abyogeredde mu ssaza lya Kabaka ery’e Butambala bw’abadde abangula abavubuka ku kutumbula embeera zaabwe n’okunyweza obukulembeze.
Ono abasabye abalonzi balonde abakulembeze abatuukana n’omutindo basobole okubasakira n’okukulaakulanya ebitundu byabwe so si kutunuulira mwana wani.
“Musooke mubakubemu ttooci, gwe mulaba nga ddala atuuse okubasakira ng’ajja kulowooza gwe muba mulonda, si kubawererera baana School fees, si gwe mulimu gwa bano, sikubasimira kaabuyonjo nemugamba nti kaabuyonjo yange yagudde si mulimu gwa bakulembeze bano,” Owek. Ssekabembe bw’agambye.
Minisita Ssekabembe awabudde nti abalonzi gye bakoma okusabiriza abeesimbyewo nabo olutuuka mu woofiisi balemwa okudda mu bantu kubanga batya okuddamu okubasaba.
Minisita Ssekabembe yagambye nti Buganda kye kitundu kyokka ekirina obusobozi okuzzaawo ekitiibwa ky’ebibiina by’obweggasi nebituusa enkulaakulana mu bantu ba Kabaka, bwatyo nabasaba okubijumbira.
Abasabye okukomya okwekwata ku ng’ombo naye bagolokoke babeeko kye bateekako engalo basobole okubaako we batuuka mu nkulaakulana yaabwe.
Minisita ayanjulidde abavubuka enteekateeka Obwakabaka gye bwakoze okusobola okubasitula n’abasaba okwekolamu ebibiina by’obweggasi era batereke ekitono kye basobola okusobola kibayambe okufuna ensimbi zebanaasiga.
Asabye abakulembeze okubaako bwe balugamya mu bavubuka so si ku baleka nkutaayaaya ku byalo nga b’onoona obudde bwe badimaze nga baliko bye bakola naddala mu kutubula embeera zaabwe ez’obulamu.
Omwami w’essaza Butambala, Hajji Sulaiman Magala asabye abavubuka mu Butambala okujjumbira amasomo g’ebyemikono kikendeeze ku bbula ly’emirimu eririwo.
Ate ye Ssentebe w’akakiiko akalondoola obukiiko bw’abavubuka n’okubulug’amya mu Buganda, Balikuddembe Ssenkusu agambye nti enteekateeka eno egenda kuyamba okuteekateeka abavubuka mu Buganda basobole okunyweza obukulembeze.
Bw’abadde ayogera Omuk. Hassan Kiyemba asabye abavubuka okuzimba obukulembeze okuviira ddala wansi mu byalo era bazzeewo enkola y’ebyoto basobole okubangulwa.
Minisita ne ttiimu ye nga bawerekeddwako abakulembeze b’essaza, basoose kulambula emirimu egy’enjawulo egikolebwa abavubuka mu kitundu kino.
Mu bano mulimu abalimi wamu n’emirimu egikolebwa ku Kabasanda Technical School, n’eddwaliro lya Supreme Hospital erisangibwa e Kibibi.