Bya Stephen Kulubasi
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, asabye abantu obutaggwaamu ssuubi olw’embeera ereeteddwa ekirwadde kya Ssennyiga kolona, ekiwanise amatanga.
“Temuggwaamu ssuubi kubanga omuntu bw’aba n’essuubi kimuwa obuvumu okulwanyisa abulwadde. Alina essuubi yeerwanako era afuba okukola ebyo ebimugasa.
Kyokka omuntu bwaggwaamu essuubi ayinza okulwala n’okufa n’afa.” Katikkiro bw’agambye. Okwogera bino, abadde asisinkanye bannamawulire wali ku Mbuga y’Obwakabaka enkulu e Bulange, Mmengo. Omuntu atalina ssuubi Katikkiro amugeraageranyizza ku kyoto ekitaliimu wadde akaliro akatono.
Mukuumaddamula asabye bannayuganda okwongera okugoberera amateeka agaateekebwawo okwewala okusaasaanya obulwadde bwa kolona omuli okunaaba mu ngalo, okukozeza eddagala eritta obuwuka erimanyiddwa nga ‘sanitizer’, okwambala obukookolo n’okwewa amabanga. Akuutidde abantu okwewala emikolo gyonna kabubeere obubaga obutegekebwa awaka. Okusinziira Ku Katikkiro, obutagoberera biragiro ye kanaaluzaala mu kisaasaanya kolona.
Katikkiro ategeezezza nti wadde mu kaseera kano kyenkana buli muntu alwazizza oba afiiriddwa omwagalwa olw’akawuka okweyubula ne keeyongera amaanyi. Kyokka abawonye nawokeera w’ekirwadde kino nabo bangi, wabula omuwendo gwabwe gubikkibwa abafudde.
Owoomumbuga asinzidde wano n’asaba abantu obuteesiga mboozi yonna ku kolona okuggyako ng’eva mu mikutu esatu gyokka omuli ekitongole ekitwala eby’obulamu mu nsi yonna, ekitongole ky’ebyobulamu mu gavumenti yaawakati wamu n’abakulembeze baabwe.