Musasi waffe
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/05/Amongi-768x1024.jpeg)
Minisita avunanyizibwa ku nsonga za Kampala, Betty Amongi agambye nti takisi zaakuddamu okukkirizibwa okudda mu Kampala singa omuggalo guggwa.
Bwabadde ayogerako eri Bannamawulire mu Kampala, Amongi agambye nit ebyo ebibungeesebwa nti tebagenda kuzikkiriza kudda byakasalo.
“Singa pulezidenti alagira emmotoka okuddamu okutambula, takisi zaakukkirizibwa okudda ebbanga lyezinaamala nga zigoberera amateeka ga minisitule y’ebyobulamu,” Amongi bweyagambye.
Yagasseeko nti abo bokka ababadde bakolera mu ppaaka enkadde beebajja okutaataaganyizibwa kubanga paaka bali kugiddaabiriza.
Andrew Kitaka Ssenkulu wa KCCA, yagambye nti takisi ezibadde zikolera mu ppaka enkadde zaakutwalibwa mu paaka endala mu Kampala.
Enteekateeka y’okuddaabiriza ppaaka yakumalawo obuwumbi 12.
Abatakisi babadde batandise okutuula obufoofofo olw’amawulire gano.
Abamu babadde beebuuza obukambwe gavumenti bwekozesezza okubagoba mu kibuga nga temaze nakubeebuzaako.