Mubende
Poliisi e Mubende ekutte ssemaka n’abantu basatu ku kyalo Nabikakala e Mubende ku bigambibwa nti basaddaase omwana.
Abakwate ye; Charles Nyanzi taata wa Sharon Nantume ow’emyaka 10 nga kigambibwa nti ye yamuwaddeyo eri omusamize.

Nyanzi yakwatiddwa ne muganzi we Diana Tugabiirwe, omusamize Sserukeera Deo wamu ne mukyala we Nabukeera Margaret.
Abatuuze balumiriza nga Nyanzi bwaludde nga yeewera nga bweyafunye ejjembe era nga mu bwangu agenda kugaggawala.
“Yagamba abuliddwa ssente mu bulungi lwakiri alina okuzifuna mu bubbi, abadde agamba buli kadde nti nina kyempanga bwekinagwa ssente ngenda kuzifuna,” omu ku batuuze bwanyonyodde
Omwogezi wa poliisi mu ttundu ttundu lye Wamala Rachael Kawala akakasizza okukwatibwa kw’abantu bano era nga okunoonyereza kugenda mu maaso.
Kawala alabudde abantu okukomya okwelaguza n’okusaddaaka abantu kubanga kimenya mateeka.
URN









