• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Sydney Nabulya Kavuma alangiriddwa ku bwa Nnalulungi wa Buganda ow’ebyobulambuzi

Gambuuze by Gambuuze
September 3, 2022
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
Sydney Nabulya Kavuma alangiriddwa ku bwa Nnalulungi wa Buganda ow’ebyobulambuzi
0
SHARES
48
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Mwana muwala, Sydney Nabulya Kavuma, ow’e Kyaddondo, alangiriddwab ku bwa Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda obw’omwaka 2022 guno, oluvannyuma lw’okukira ku banne bwebavuganyiza okuva mu masaza 18.

Omukolo gubaddewo mu kiro ekikeesezza olwa leero mu bimuli bya Bulange,  e Mengo, era nga Nnaabagereka Sylivia Nagginda, y’abadde omugenyi omukulu.

Bw’abadde akola omukolo guno, Nnaabagereka akubirizza abawala bano okwagala ennyo obuwangwa n’ennono zaabwe, ate basikirize abantu okujja okulambula ebintu bya Buganda.

Abakuutidde okusigala nga bawulize; b’amazima, ate nga bayonjo, kuba ezo ze zimu ku nnyingo z’obuntubulamu ezisomesebwa mu Kisaakaate.

Akiggumizza nti basaana okunyweza ebyo bye bayize mu bbanga lye bamaze nga bateeketeebwa kuba bijja kubayamba nnyo mu bulamu bwabwe awamu n’abantu baabwe.

Ye Omumyuka wa Katikkiro Asooka era Minisita Avunaanyizibwa ku Nzirukanya y’Emirimu ne Tekinologiiya,  Oweek.  Prof.  Twaha Kaawaase, eyabaddewo ku lwa Katikkiro,  yeebazizza nnyo Maama Nnabagereka olw’okuwaayo obudde n’abaawo ku mukolo, ate n’okulafuubana okulaba ng’emiti emito givaamu omulamwa.

Akulisizza abeetabye mu mpaka zino baagambye nti bonna abawanguzi olw’olwobuvumu bwe balaze okuvaayo okuvuganya.

Abasabye okukuuma empisa ennungi; okunyweza mikwano gyabwe; obuteegulumiza, ate n’okubeera ababaka ba Buganda ab’omugaso.

Asabye abazadde okuwagira abaana baabwe ku buvunaanyizibwa buno bwe bafunye.

Akiggumizza nti Obwakabaka bwa Buganda buzimbye erinnya lyabwo emyaka miyitirivu, nga n’olwekyo abo bonna abagenda okugikwatira bbendera balina okukuuma erinnya eryo obulungi.

Abeebazizza olw’obuyiiya bwe boolesezza n’abasaba okubweyambisa okubaako kye beekolera ekibagasa.

Ye Oweek.  David Kyewalabye Male, Minisita w’Obuwangwa, Ennono, Obulambuzi n’Embiri,  yeebazizza nnyo bonna abeetabye mu nteekateeka eno, ate n’Amasaza agaavuganyizza.

Omukolo gwetabiddwako: Omulamuzi Julia Ssebutinde, Oweek Lukwago Rashid, Omwami w’essaza ly’e Mawokota Kayima Gabriel Kabonge, Mmeeya wa Lubaga Zzachy Mbeeraze Mawula, Ssenkulu wa Buganda Heritage and Tourism Board Victoria Kayaga, Ssenkulu wa Majestic Brands Remmie Kisaakye, Katikkiro wa Kisolo Edirisa Kitandwe, Omuk. Wilson Muzzanganda n’abalala bangi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist