
Bya Francis Ndugwa
Makindye – Kyaddondo
Supreme Mufti wa Uganda, Sheikh Muhammad Shaban Galabuzi asabye abakulembeze mu Bwakabaka okufuba okukubiriza abantu naddala abavubuka obuteetundako ttaka wabula balikozese okwekulaakulanya.
Okwogera bino Sheikh Galabuzi abadde Kibuli ng’ asisinkanye abakulembeze b’Eggombolola ya Mutuba III Makindye Kibuga nga bakulembeddwaamu Mutuba VI Kibuli, Mulindwa Mukasa, abagenze okumweyanjulira n’okwongera enkwatagana.
Sheikh Galabuzi era avumiridde Bannakigwanyizi abasussizza okubba ettaka ly’abantu kyokka nebasigala nga bayinaayina awatali kukolwako ng’amateeka bwegalagira.
Mufti abaaniriza mu woofiisi ye era nga bano bamwanjulide abakulembeze baabwe wamu n’ebibasoomooza bwebasanga nga baweereza abantu b’Omutanda.
Bano Supreme Mufuti abayitiddemu ku bimu byebakoze omuli okuzimba amasomero, amalwaliro, okugaziya n’ebirala.
Supreme Mufti akakasizza nti baakunyweza enkolagana y’Obusiraamu n’Abakulembeze ab’enjawulo okuva mu Bwakabaka.
Omwami wa Kabaka atwala Eggombolora Mutuba iii Makindye Kibuga Haji Musa Musoke Ssemambo n’Omumyuka we Francis Lubowa babuulidde Supreme Mufuti ezimu ku enteekateeka zebatandikirako okukyusa embeera z’abantu.
Ate ye Hajat Mariam Nassali nga naye mukulembeze w’Abakyala yeeyamye okusomesa abakyala okukola ennyo n’Okwekulaakulanya.









