Bya Ssemakula John
Kampala
Ekitebe kya poliisi mu ggwanga ne ‘ National Security Command Centre’ e Naguru biggaddwa olw’ekirwadde ki COVID-19.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/08/Police-HQ.jpg)
Omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Ennanga, yategeezezza nti wofiisi zino zonna ziggadwa olw’okweyongera kw’ekirwadde ki COVID-19 mu Kampala n’emirilaano nga n’omuwendo gw’ abaakafa gweyongedde.
“Ekitebe tukiggaddewo okumala ennaku ssatu. Tukikoze okusobozesa okufuuyira ekifo kino, okusala ku muwendo gw’abantu wamu n’okukebera abakozi bonna,” Ennanga bweyagambye.
Ennanga yanyonyodde nga kaweefube ono bwatandise ku Mmande era nti bakukebera abapoliisi bonna ku kitebe n’abakugu abakola ku kkamera za CCTV.
Ku ky’okukebera abapoliisi bonna mu Ggwanga, Enanga yagambye nti bakolaganira wamu ne Minisitule y’ebyobulamu okugenda maaso n’okukebera abamu ku bapoliiisi bano.
Ennanga yakakasizza nga abapoliisi abasinga naddala abakolera mu kitundu kya Kampala n’emirilaano wamu naabo abali e Isingiro, Jinja ne Masindi.
Kitegeerekese nti waliwo enteekateeka y’okufuuyira poliisi zonna 1600 eziri mu Ggwanga n’eddagala eritta akawuka . Kino Ennanga agamba nti bakyakyetegereza kubanga kyetaaga ssente nnyingi.