Bya Jesse Lwanga
Mukono – Kyaggwe
Omwami wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza Kyaggwe, Ssekiboobo Elijah Bogere Mulembya, atongozza kaweefube w’okuzimba bbugwe okwetooloola Embuga yonna kitaase ku kibbattaka ekifunze ekyonga. Ssekiboobo Mulembya bw’atyo n’atongoza kaweefube w’okunoonya ensimbi ezinaakola omulimu guno.
Okusinziira ku Ssekiboobo Embuga yonna yali yakubwamu amakubo era nga abantu bagayitamu, ekibadde kittattana ekitiibwa kyayo.
Embuga eno esangibwa ku kyalo Ggulu mu kibuga Mukono wakati, Ssekiboobo Mulembya ky’agamba nti kigitadde mu mbeera enzibu era nga nayo yennyini yeetaaga okuddaabirizibwa esobole okutuukana n’ekitiibwa kyayo.
Ssekiboobo agamba bagenda kutandikra ku bbugwe n’oluvannyuma bakole ku ky’okugiddaabiriza. Mulembya agamba nti okuva Embuga eno lwe yazimbibwa babadde bagisiga busiizi langi wabula nga kano ke kaseera okulaba nga bagiteekako ebintu ebirala, ebigenda okugiweesa ekitiibwa. Ssekiboobo annyonnyodde nti balina ekiteeso ky’okuzimba amaduuka ku bbugwe, gayambe okuvaamu ensimbi ezinaddukanya emirimu gy’Omutanda mu ssaza lino.
Okusinziira ku Ssekiboobo omulimu guno gwakumalawo ensimbi ezisoba mu bukadde 500 era kaweefube w’okuzinoonya bamutandikidde Mpatta mu Mukono era abaami ba Kabaka ne beeyama okukola buli kimu okulaba nga omulimu guno gumalirizibwa.