Bya Jesse Lwanga
Mukono – Kyaggwe
Omwami w’essaza lya Ssaabasajja Kabaka ery’e Kyaggwe, Ssekiboobi Elijah Bogere Mulembya, alagidde abatuuze ku ttaka ly’Obwakabaka ery’e Nakanyonyi mu Mukono okuwandiika bannanyini bibanja okusobola okumalawo embiranye wakati w’Obulabirizi bw’e Mukono n’abatuuze.
Ssekiboobo okwogera bino abadde ku kyalo Nakanyonyi ekisangibwa mu ggombolola y’e Nabbaale mu disitulikiti y’e Mukono, okulaba ng’atabaganya abatuuze n’ekkanisa oluvannyuma lw’omulabirizi we, Mukono James Williams Ssebagala okwekubira enduulu ewa Katikkiro.
Kino kiddiridde abatuuze ku kyalo Nakanyonyi okukkakkana ku mmere ya babuulizi gye babadde baasimba neb agisaawa nga bawakanya ekkanisa okutwala ebibanja byabwe nga tennaba kubasasula. Okusinziira ku batuuze ettaka lino Obwakabaka bwa Buganda bwe bwaliwa Ekkanisa y’e Mukono nga kati Obulabirizi bw’e Mukono okutwala ebibanja byabwe ku mpaka, si kya bwenkanya.
Mu lukiiko olutudde ku kyalo kino, abatuuze bategeezezza Ssekiboobo nti Ekkanisa ye yabasangako nga bo ba bibanja wabula tebasobola kugikkiriza okubasindiikiriza nga temaze kubasasula. Abatuuze balumiriza Ekkanisa okukozesa poliisi y’e Naggalama ne babasiba oluvannyuma yo n’etandika okusaawa ebintu byabwe nga bali mu makomera.
Ssentebe w’ekyalo kino, Peter Kaweesa agamba nti kituufu ettaka lya Kkanisa naye ate Ekkanisa ye yasangako abatuuze era eky’okuwamba ebibanja byabwe n’okusaanyaawo emmere yaabwe, tekikola makulu.
Wabula ye omwogezi w’Obulabirizi bw’e Mukono, Derrick Kaddu, abiwakanyizza n’ategeeza nti ku ttaka lino tekwaliko muntu yenna wabula bajja beesenzaako era n’akakasa nti ng’ekkanisa tebagenda kukkiriza kufiirwa ttaka lyabwe.
Ettaka lino kigambibwa lituddeko abantu abasoba mu 300 nga likunukkiriza yiika 400.