Bya Jesse Lwanga
Mukono
Omwami wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza Kyaggwe Ssekiboobo Kyaggwe Elijah Bogere Lubanga Mulembye yennyamidde olw’empisa eziwedde mu bantu era n’asaba wabeewo ekikolebwa mu bwangu nga kitandikira mu baana abato.
Okwogera bino Ssekiboobo abadde ku kyalo Nsonga ekisangibwa mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono ku mukolo gw’okusabira abagenzi mu maka g’Omwami Nviiri n’omukyala Yudaya Nkatudde.
Yategeezezza nti eggwanga lyolekedde akaseera akazibu kuba tewakyali muntu yenna afaayo ku mpisa n’ebyo ebirina okukolebwa okukuuma obuntu bulamu.
Ssekiboobo yagambye nti omuntu bw’akulira mu mpisa ayanguyirwa obulamu kubanga abantu babeera bamweyuna era n’asaba abazadde obutakoowa kukubiriza baana kunyweza mpisa awamu n’ennono za Buganda basobole okufuuka ab’omugaso.
Ono akunze bannakyaggwe okulaba nga bavimirira ebikolwa by’okuwamba abantu ebibunye mu ssaza lino nga abeng’anda bangi n’okutuuka kati tebannaba kuddamu kulaba ku bantu baabwe okuva we baawambibwa.
Ye Owek. Hajji Juma Bbosa Mayanja ng’ono mukiise mu lukiiko lwa Buganda okuva e Mawookota, asabye abantu okwagalana ne bannaabwe kuba y’engeri yokka gye basobola okweyimusa n’okukulaakulana. Ate ye Vicar wa Lutikko ya St. Philips and Andrews Cathedral Mukono, Rev. Edward Muyomba, nga ye yakulembeddemu okusaba yasabye eggwanga okuddamu empisa wadde nga waliwo enjawukana mu ddiini n’obuwangwa obw’enjawulo.
Ye Omubaka omulonde owa maserengeta ga Mukono, Fred Kayondo yalaze ekizibu kino we kivudde n’agamba nti abantu ensangi zino tebakyalina nsonyi nga kino tekitaliza wakati wa bakulembeze n’abo be bakulembera.
Kayondo nga yawangulira mu kibina kya DP, asabye abantu obuteewalana okusinziira ku bibiina byabufuzi n’ensobi ezaaliwo mu kulonda, wabula beegatte basobole okwekulaakulanya.