Bya Pauline Nanyonjo
Mengo – Kyaddondo
Aba Victoria Gospel Academy abategesi ba VIGA awards mu bannabitone abalokole abayimbi, abazinyi wamu n’abazannya katemba bakiise embuga okuloopa olutabaalo ku nkola yabwe ey’emirimu wamu n’okusiima emirimu egyakolebwa Ssekabaka Muteesa I naddala okuyita abamisani abaleeta eddiini Kati mwebeyagalira.

Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro n’Ebyobuwangwa mu Bwakabaka Dr. Anthony Wamala kulwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, asiimye ekirowoozo kyabawereza ba VIGA awards eky’okusiima Ssekabaka Muteesa I olw’omusingi gweyasimira bannabitone omugumu mukutumbula ebitone mu Buganda.
Ono Alaze nti bweyayita abamisani mu Buganda bagya n’ettu eryenjawulo eryasobola okuyitimusa ebitone by’abantu nga bayita mukusoma.

Ssentebe wa VIGA awards Nicolas Nnyombi alaze nti awaadi zino zigenderera kutumbula nakukyusa mbeera z’abantu okuyita mu bitone byabwe wamu n’amawulire nga batambulira mu ddiini yabwe eyabalokole.
Ono alaze nti awaadi z’omwaka 2026 bakutambulira ku nteekateeka eyitibwa ‘Harmony 360’ nga mwebayita okulungamya abayimbi abayimba ezitali za ddiini okugeza ez’omukwano, obutonde, obukulembeze, ebyenfuna nga ekirubirwa kya kukuza bitone okuyita mu bubaka obwenjawulo.

Nnyombi kulwa VIGO awards ayanjudde awaadi eyenjawulo esiima Ssekabaka Muteesa I nga bano bamweebaza okuwandiika ebaluwa eyayita abamisani abaleeta eddini bbo nga bannabitone mwebasiinga okuva.









