Bya Ssemakula John
Masaka
Kkooti enkulu e Masaka egaanye ababaka era bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) okuli Mohammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana, okweyimirirwa nga bwe babadde basabye.
Bw’abadde awa ensala ye leero ku Mmande, Omulamuzi Lawrence Tweyanze ategeezezza nti oludda oluwaabi lumumatizza nti singa bano bayimbulwa basobola okuyingirira okunoonyereza okukyagenda mu maaso.
Omulamuzi Tweyanze era agamba nti bwe bayimbulwa basobola okulemererwa okudda mu kkooti, bw’atyo n’agaana okusaba kwabwe.
Munnamateeka w’ababaka bano, Shamim Malende ategeezezza nti kkooti bagiwa ekitiibwa naye ensonga omulamuzi z’awadde zibadde zibulamu kuba ky’akoze kubadde kuteebereza kuba tewali bukakafu nti bano baali bagaanyeeko okweyanjula awantu wonna.
Malende agambye nti ensonga z’ebyobulamu, Omulamuzi taziwadde makulu, ekirina okukyuka kuba kino tekikwata ku babaka bano bokka naye n’abasibe bangi baleeteddwa nga bali mu mbeera mbi kyokka ne baddizibwayo wabula ng’amalwaliro g’amakomera nago tegalina bikozesebwa.
Ono agamba nti ekifaananyi ekiragibwa kati kiraga nti kkooti zitandise okutambulira ku ntoli za Pulezidenti Museveni azannya ebyobufuzi, kuba engeri ebintu gye bitambula, eraga nti waliwo abali emabega atayagala nsi kumanya mazima ku ani yatemula bannamasaka.
Malende annyonnyodde nti kati ensonga agenda kuzitwala mu kkooti ejulirwamu kuba alemeddwa okufuna obwenkanya mu kkooti enkulu.
Kinajjukirwa nti ababaka bano baddamu ne bakwatibwa ku misango gy’ettemu bwe baali baakayimbulwa ku misango gy’ettemu eryali e Masaka ne baddamu ne baggalirwa mu makomera.