• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ssegirinya ne Ssewanyana bagaaniddwa okweyimirirwa

Gambuuze by Gambuuze
October 25, 2021
in Amawulire
0 0
0
Ssegirinya ne Ssewanyana bagaaniddwa okweyimirirwa
0
SHARES
32
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Masaka

Kkooti enkulu e Masaka egaanye ababaka era bannakibiina kya National Unity Platform (NUP)  okuli  Mohammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana, okweyimirirwa nga bwe babadde basabye.

Bw’abadde awa ensala ye leero ku Mmande, Omulamuzi Lawrence Tweyanze ategeezezza nti oludda oluwaabi lumumatizza nti singa bano bayimbulwa basobola okuyingirira okunoonyereza okukyagenda mu maaso.

Omulamuzi Tweyanze era agamba nti bwe bayimbulwa basobola okulemererwa okudda mu kkooti, bw’atyo n’agaana okusaba kwabwe.

Munnamateeka w’ababaka bano, Shamim Malende ategeezezza nti kkooti bagiwa ekitiibwa naye ensonga  omulamuzi z’awadde zibadde zibulamu kuba ky’akoze kubadde kuteebereza kuba tewali bukakafu nti bano baali bagaanyeeko okweyanjula awantu wonna.

Malende agambye nti ensonga z’ebyobulamu, Omulamuzi taziwadde makulu, ekirina okukyuka kuba kino tekikwata ku babaka bano bokka naye n’abasibe bangi baleeteddwa nga bali mu mbeera mbi kyokka ne baddizibwayo wabula ng’amalwaliro g’amakomera nago tegalina bikozesebwa.

Ono agamba nti ekifaananyi ekiragibwa kati kiraga nti kkooti zitandise okutambulira ku ntoli za Pulezidenti Museveni azannya ebyobufuzi, kuba engeri ebintu gye bitambula, eraga nti waliwo abali emabega atayagala nsi kumanya mazima ku ani yatemula bannamasaka.

Malende annyonnyodde nti kati ensonga agenda kuzitwala mu kkooti ejulirwamu kuba alemeddwa okufuna obwenkanya mu kkooti enkulu.

Kinajjukirwa nti ababaka bano baddamu ne bakwatibwa ku misango gy’ettemu bwe baali baakayimbulwa ku misango gy’ettemu eryali e Masaka ne baddamu ne baggalirwa mu makomera.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist