Bya Ssemakula John
Kampala
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Gladys Kamasanyu, asindise omubaka omulonde owa Kawempe North mu Palamenti, Muhammad Ssegirinya ku alimanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 08, omwezi ogujja lw’anadda okulaba oba yeeyimirirwa.
Kino kiddiridde Omubaka Ssegirinya okusimbibwa mu kkooti leero ku Lwokubiri oluvannyuma lw’okukwatibwa nga yeekalakaasa ng’abanja bannakibiina kya NUP abaawambibwa n’avunaanibwa okukuma mu bantu omuliro wadde ng’omusango guno agwegaanye.
Kigambibwa nti Sseggirinya yabadde wamu n’abantu abalala nga bakutte ebipande ebibanja abakwate wamu n’okuvumirira ebikolwa ebivvoola eddembe ly’obuntu. Bano baabombye oluvannyuma lw’okulaba poliisi wabula oluvannyuma Ssegirinya n’akwatibwa era n’aggalirwa. Oludda oluwaabi lutegeezezza nti Ssegirinya wamu n’abalala abaliira ku nsiko bakung’aana nga 25 /March/ 2021 ku Mini Price mu Kampala ne batandika okukuma omuliro mu bantu nga bakutte ebipande ebibanja obuwanguzi bwa Bobi Wine, Mubiru James, Nubian Lee, Eddy Mutwe be bagamba nti bakwatibwa lwa ndowooza zaabwe ez’ebyobufuzi wamu n’okuwagira Robert Kyagulanyi