Bya Ssemakula john
Jinja
Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Jinja, Annie Kyomuhangi, ayimbudde eyeesimbyewo ku bubaka bwa Kawempe North mu Palamenti, Muhammad Sseggirinya ku kakalu ka kkooti.

Sseggirinya yakwatibwa wiiki ewedde e Nalufenya mu Jinja bwe yali aweereza butereevu obubaka ku mukutu gwe ogwa Facebook, ab’obuyinza bwe bagamba nti bwali bukuma mu bantu omuliro.
Ono yavunaanibwa okukuma mu bantu omuliro wamu n’okukuba olukung’aana olumenya amateeka era n’asindikibwa mu kkomera e Kirinnya gy’abadde akuumirwa okutuuka olwaleero.
Munnamateeka wa Sseggirinya, Shamim Malende, asabye kkooti okukkiriza omuntu we okweyimirirwa kubanga omusango ogumuvunaanibwa gumu ku ejjo egikkirizibwa okweyimirirwa.
Omulamuzi alagidde Sseggirinya okuwaayo akakalu ka kakadde kalamba akatali ka buliwo ate abamweyimiridde okuli; Andrew Muwanguzi akulira NUP mu Busoga ne Molson Bizitu Sipiika w’ekibuga ky’e Jinja buli omu okusasula akakadde kamu akatali kabuliwo.
Kyomuhangi alagidde Sseggirinya okudda mu kkooti nga 15/ December/2020 okuddamu okuwulira omusango ogumuvunaanwa.
Munnamateeka Malembe asabye kkooti eragire poliisi okuddiza Ssegirinya essimu ze zirumamyo ebbiri, paasipooti, endagamuntu wamu n’emmotoka ye ebyatwalibwa poliisi ng’akwatibwa.
Malende era ategeezezza kkooti ng’ekiseera Sseggirinya kye yamaze ng’aggaliddwa ku poliisi e Nalufenya, bwe yagaanibwa okulabibwako abooluganda lwe ne bannamateeka be, ekintu ekimenya amateeka.