
Bya Pauline Nanyonjo
Mengo – Kyaddondo
Ssaabawolereza w’Obwakabaka asisinkanye omulamuzi w’e Bugirimaani neboogera ku nkwata y’emisango mu Buganda.
Ssaabawolereza w’Obwakabaka Oweek Christopher Bwanika, asisinkanye omulamuzi His Lordship Harald Janet, okuva e Bugirimaani wamu n’ekibinjja kyatambudde nakyo ekya bannamateeka banne n’omusawo omukugu nga bali mu kunoonyereza ku nkwata n’ensala y’emisango eyedda mu Buganda.
Ssaabawolereza bano abannyonnyodde ku nkwata y’amateeka mu Buganda eyita mu Bitaawuluzi ku byalo nga biramulwa abantu ba bulijjo nga abawaabi basalirwa ebibonerezo ebibatuukirako obutereevu.
Oweekitiibwa Bwanika alaze nti Obwakabaka bwaniziriza buli muntu ajja gye buli naddala abo abaagala okusitula embeera z’Abantu ba Kabaka kale nno ne bannamateeka abo okuva e Bugirimaani babasuubira okukwatagana okubaako enkulaakulana ey’enjawulo mu luse lw’amateeka.
Ku nsonga y’emisango egikandaaliridde mu kkooti ezitali zimu mu ggwanga, Oweek Bwanika awabudde kul’Obwakabaka nti okusala emisango mu ngeri eya kisajja kikulu kusobola okumalawo entuumu y’emisango egyo.
Omulamuzi wa Regional Court e Bugirimaani, Harlad Jannet nga yakulembeddemu ekibinja kino, asanyukidde nnyo ensisinkano y’abwe ne Ssaabawolereza w’Obwakabaka n’alaga nti bayize enkwata y’amateeka ey’enjawulo okwawukanako n’ebibeera e Bugirimaani ky’annyonnyodde nti engeri Buganda gyekwatamu emisangi gino, ya mazima nabwenkanya.
Abagenyi bano balambuziddwa ekizimbe Bulange wamu n’okubannyonnyola entambuza y’emirimu mu Bwakabaka.








