
Bya Francis Ndugwa
Lubaga – Kyaddondo
Ssaabasumba omuggya Paul Ssemogerere akunze abantu wonna mu ggwanga okufuba okukuuma n’okukozesa obulungi ettaka lyabwe.
“Kantwale omukisa guno okubatageeza mukuume era mukwate bulungi ettaka lyammwe. Awatali ttaka tewaba Butaka bwaffe olwo tuba tufuuse mmomboze.” Ssaabasumba Ssemogerere bw’asabye abakkiriza.
Okusaba kuno Ssaabasumba Ssemogerere akukoledde mu Lutikko e Lubaga leero ku Lwokubiri mu Mmisa n’omukolo gw’okumutuuza nga Ssaabasumba omuggya ng’adda mu bigere bya Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyafa gye buvuddeko .
Ssaabasumba Ssemogerere agamba nti ng’Eklezia tebasobola kwerabira Bwakabaka bwa Buganda era buli lukya bajjukira Ssekabaka Muteesa I bye yabakolera ng’abawa ettaka okutudde akasozi Lubaga ng’abiwa Abamisani okuli Mapeera ne banne okusimbawo amakanda basinziire wano okubunyisa ekigambo kya Katonda.

Okusinziira ku Ssaabasumba Ssemogerere, ekifo kyennyini Lutikko y’e Lubaga weeri we waali Olubiri lwa Ssekabaka Muteesa I.
Bino we bijjidde nga Gavumenti ekyatwala mu maaso etegeka z’okuggyawo ettaka lya Mayiro ng’egamba nti lye lisinze okuvaako obutabanguko mu ggwanga era abamu ku batunuulizi b’ensonga baavaayo ne bavumirira ensonga eno nga bagamba nti ekontana ne Ssemateeka w’eggwanga.
Ssaabasumba Ssemogerere ategeezezza nti omulimu guno agenda kugukola mu kukkiriza era n’obwetwaze era n’akakasa nti abajulizi abaayiwa omusaayi gwabwe ku lw’ekigambo kya Kristo bajja kwongera okumulung’amya.
Ssaabasumba Ssemogerere agamba nti kya buvunaanyizibwa okugabana ebyobugagga bw’ensi mu bwenkanya era wabeewo obwerufu kiyambe okukendeeza ku nguzi eri mu ggwanga era bannansi balwanirire obwenkanya mu maka n’emirimu.
Ono alaze okutya ku bbula ly’emirimu awamu n’abantu okubeera n’omutima ogutakyalumirirwa nsi era nga kino kireeseewo obwetaavu bw’omukono gwa Katonda omwawufu ogwakwata ku Sawulo n’afuuka Pawulo.
Ssaabasumba ategeezezza nti obugagga bw’essaza lino bujja kubeesiimisa mu maaso g’Omukama ng’okusinga buli mu baana abato abeetaaga okulambikibwa nga bangi ku bano bali ku nguudo ssaako Abasaseredooti, Abakulistu abakazi n’abasajja abakugu awamu n’ebitongole bya gavumenti ebikulu nga byonna bisangibwa mu kitundu kino.

Ono agamba nti wadde ebisoomoozo weebiri naye ku mulundi guno baakubivvuunuka nga bakozesa omubala gw’essaza lya Kampala ogugamba nti ‘Totya, situka kwata olunnyo lwo ogende.’
Asabye abantu ba Katonda obutatya ekiseera kyonna naye bafube okukola era bategeke emibiri gyabwe.
Ono era yeeyamye okugondera Ppaapa Francis ng’omusika wa Petero era n’amwebaza olw’okumulonda nga Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala. Ono era asiimye Omubaka wa Ppaapa mu ggwanga, Luigi Biano olw’okumulung’amya mu kaseera w’abeeredde omukuumi w’entebe ya Ssaabasumba.

Ssaabasumba Ssemogerere asiimye Bannakasana Luweero olw’okumukkiriza okubeera Omusumba waabwe era ng’emirimu gye bakoze wamu naye gye gisobodde okumufuula Omusumba owookubiri okuva mu Busumba bwa Kasana -Luweero okufuuka Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala.
Omukolo guno gwetabiddwako; Omumyuka wa Pulezidenti, Jesca Alupo, Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti Anita Amongi, Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga, Katikkiro Charles Peter Mayiga, Omulangira David Kintu Wasajja, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omukubiriza w’Olukiiko Patrick Luwaga Mugumbule, Bakatikkiro abaawummula, Baminisita awamu n’abakungu abalala okuva mu Bwakabaka.









