Bya Musasi Waffe
Kampala
Akulira essaza Ekkulu ery’e Kampala mu kiseera kino, Msgr . Charles Kasibante, akakasizza nti Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga agenda kuziikibwa mu Lutikko e Lubaga. Dr. Lwanga y’agenda okubeera Bisoopu owookusatu okuziikibwa mu Lutikko eno.
Eyasooka yali Bisoopu Edouard Michaud, ono yali munnansi wa Canada era yali omu ku baminsane Ba-White Fathers’ era ye yali Vicar w’Eklezia ya Uganda okuva mu 1933 okutuuka mu 1945 we yafiira.
Munda mu Lutikko eno mwe muli n’ebisigalira bya Bisoopu Joseph Kiwanuka eyali omuddugavu eyasooka okufuna ekitiibwa kya Bisoopu era ono yafa mu 1966 nga waakayita emyaka 5 oluvannyuma lw’okufuuka Ssaabasumba w’essaza ly’e Rubaga nga bwe lyali liyitibwa mu kiseera ekyo.
Okusinziira ku Msgr. Kasibante, ababiri bano baaziikibwa ku ludda olwa ddyo olw’Eklezia emabega w’ekifo Kkwaya w’eyimbira.
Kasibante agamba nti ku Lwokuna, Ssaabasumba Lwanga agenda kuziikibwa mu makkati g’abakulu bano ababiri abaasooka okuziikibwayo.
Eyali Vicar Genero, Gerald Kalumba annyonnyodde nti yafuuka mpisa okuziika ba Ssaabasumba mu Lutikko gye bali baweerereza.
Ono agambye nti naye kino olumu kisinziira kuba singa Ssaabasumba yenna abaako ekiraamo ky’alese nga kiraga w’ayagala okuziikibwa olwo ekiraamo kye kissibwamu ekitiibwa.
Msgr. Kalumba awadde eky’okulabirako kya Kalidinaali Emmanuel Nsubuga eyaleka ekiraamo ng’asaba bamuziike mu maka ga bakateyamba ge yali atandiseewo.
Okusinziira ku bimanyiddwa mu Eklezia, Lutikko ez’enjawulo zirina ebifo ebyenjawulo ebyateekebwamu okuziikamu ba Ssaabasumba.
Ennono eno yatandikira mu biseera abasomi mwe baali bayiganyizibwa era nga bangi mu budde obwa baaziikibwa mu mpuku gye baali beekukumye era ennono eno n’abaliwo kati bakyagitwala mu maaso.
Singa ekifo ekiziikibwamu abakulu bano kijjula, abakulira Lutikko basobole okufuna ekifo ekirala we babaziika naye era nga bagoberera akalombolombo ke kamu. Eky’okulabirako ekirungi, e Masaka ba Bisoopu babiri baaziikibwa munda mu Lutikko y’e Villa Maria eyasooka okuzimbibwa nga tennakyusibwa kuzzibwa Kitovu.
Naye Bisoopu Kaggwa bwe yafa emabegako nga tewali we bayinza muziika, bwebatyo ne basalawo okumuzimba mu kkanisa esangibwa mu limbo ya Seminale y’e Bukalasa.
Okusinziira ku lupapula lwa Observe, Cansala w’e Masak, Rev. Fr. Edward Ssekabanja, yagamba nti Eklezia eno baagiteekawo okuziikamu Babisoopu b’e Masaka awamu ne Babisoopu abalala abatali mu Masaka naye nga badyagadde okuziikibwa mu kitundu kino.