Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga, avumiridde ekibbattaka ekisusse nga kino okusinga kikolebwa abakulu mu gavumenti, n’abasaba okweddako.
Okuwanjaga kuno Ssaabasumba Lwanga akukoze ku Ssande ku Lutikko e Lubaga bwe babadde bajaguza okuweza emyaka 54 egy’essaza eryo.
Dr. Lwanga agambye nti gavumenti ezaasookawo zaagabira Eklezia ettaka naye ate abamu ku bakulu abali mu gavumenti eri mu buyinza, bafunvubidde okulaba nga balinyaga okulimalawo awatali kwekomako.
“Singa mbabuulira engeri gye babbamu ettaka lyaffe, osobola okwewuunya. Jjuuzi bandeetera n’ekyapa nga kiriko emikono gy’abakungu b’ebyettaka ne ‘Registered Trustees’ ng’ekifaananyi ekyange kwekiri nekya Vicar General, naye nga kuliko ate omulala atali wano, ne kituuka eri ne kikkirizibwa era ne bamuwa ettaka.” Bw’atyo Ssaabasumba bwe yalaze obutali bumativu.
Lwanga annyonnyodde ng’ekibbattaka bwe kyegasseeko ebizibu ebirala okuli; obulyi bw’enguzi, ettemu, n’ebirala era nga bino byolekedde okusuula eggwanga mu ntata singa tewabaawo kikolebwa.
Ono era yasinzidde wano neyennyamira olw’obutabanguko obuli mu bibiina by’ebyobufuzi ebyenjawulo n’asaba abasasula abantu okuvuma bannaabwe ku mitimbagano gya ‘Social Media,’ okukikomya mu bwangu kuba kitatana eggwanga.
Ssaabasumba Lwanga yakozesezza ebijaguzo bino okusaba gavumenti ekkiriza amasinzizo amanene okwongeza ku muwendo gw’abagoberezi abasaba buli Ssande okusukkako ku bantu 70 gavumenti be yalagira.
Lwanga yagambye nti emyaka bajaguza 54 kubanga lino lye bbanga essaza lya Kampala gye limaze bukyanga litondebwawo nga 30 October, 1966 era nga Ssaabasumba eyasooka ye Kalidinaali Emmanuel Wamala.
Mu kusooka essaza lino lyali liyitibwa Nsambya Diocese era nga lyali litwala aba Mill Hill missionaries ate nga Lubaga awaali watuula Br. Lourdel Mapeera ye Archdiocese.
Okusinziira ku Dr. Lwanga, oluvannyuma lwa Uganda okufuna obwetwaze, Ppaapa Paul VI yakiraba nga tekikola makulu okuba nga ‘Diocese’ ne Archdiocese byonna biri mu kifo kimu, era bw’atyo n’alagira essaza lya Nsambya okwegatta ne Lubaga omwava Kampala Archdiocese.