Okwewandiisa kuno kwakulembeddwamu Col.Moses Mwesigwa nga ono yakulira okwewandiisa n’emirimu mu kitongole ekigaba endaga muntu mu Uganda ekimanyiddwa nga NIRA.
Bino byabadde mu Lubiri lwa Ssaabasajja Kabaka e Banda era nga gyeyewandisiriza. Ssaabasajja yakubiriza banna Uganda bonna okugenda okwewandiisa abo bona abatanaba kwewandiisa.