
Okwewandiisa kuno kwakulembeddwamu Col.Moses Mwesigwa nga ono yakulira okwewandiisa n’emirimu mu kitongole ekigaba endaga muntu mu Uganda ekimanyiddwa nga NIRA.
Ssaabasajja Kabaka nga yewandiisa okufuna endagamuntu. Ssaabasajja Kabaka nga ayambibwako abakungu okuva mu Nira okwewandiisa e Banda.
Bino byabadde mu Lubiri lwa Ssaabasajja Kabaka e Banda era nga gyeyewandisiriza. Ssaabasajja yakubiriza banna Uganda bonna okugenda okwewandiisa abo bona abatanaba kwewandiisa.