• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi avumiridde okutta abantu okwali mu kwekalakaasa

Gambuuze by Gambuuze
November 29, 2020
in Agafa e Mengo
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi avumiridde okutta abantu okwali mu kwekalakaasa
0
SHARES
21
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa ne Gerald Mulindwa

 Lubiri – Mmengo

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi  II, avumiridde ettemu eryaliwo mu kwekalakaasa gyebuvuddeko era n’asaba obulamu bw’abantu bukwatibwe ng’ekintu ekikulu.

Dr. Musoba nga akwasa Nnyinimu ekirabo ky’okulwanyisa ekirwadde kya siriimu

Omutanda bino abyogeredde mu kusimbula emisinde gy’amazaalibwa egiddukiddwa mu ngeri ya Ssaayansi leero ku Ssande mu Lubiri lw’e Mmengo awamu n’ebifo by’eggwanga ebirala.

“Mu mwaka gwa 1945 nga tukyafugibwa abazungu, waaliwo okwekalakaasa era abantu 8 battibwa naye newankubadde ng’abantu 8 battibwa naye waateekebwa okunoonyereza. Ne kaakati kyandibadde kirungi okwekenneenya okwekalakaasa okwo era n’enfa y’abantu abo.” Empologoma bw’egambye.

Omutanda asinzidde wano n’atuusa okusaasira kwe eri abo bonna abaafiirwako abaabwe mu nnaku ebiri okwekalaakasa ze kwamala, era n’asaasira n’abo abakyali mu malwaliro olw’obuvune bwe baafuna.

Ssaabasajja asaasidde abantu abaakwatibwa ne basibwa mu kkomera okuli; abalina omusango n’abatalina nga bano abakwasizza Nnamugereka abanyige  ebiwundu eby’omubiri n’omwoyo.

Kabaka Mutebi asiimye bannamikago naddala aba UNAIDS olw’okumulonda okukwata omumuli gw’ekirwadde kya Siriimu era n’akakasa nti obuvunaanyizibwa buno agenda kufuba okulaba ng’abutuusa mu byalo era n’akakasa nti abasajja bagenda kweyingiramu.

Beene yeebazizza abantu abasobodde okwetaba mu misinde gino wonna mu Buganda ne Uganda era n’alaga nti omukolo guno gukolebwa okulaba nga kaweefube ku kirwadde ekibeera kinokoddwayo w’abeera atuuse.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ategeezezza nti baasalawo emyaka gya Kabaka bagitambulize ku bintu eby’ensonga ng’ebyobulamu, kiyambe okuzza Buganda ku ntikko.

Katikkiro Mayiga yeebazizza bannamikago okuli kkampuni ya Airtel, DFCU bbanka, Uganda AIDS Commission n’abalala olw’okuvaayo okukwasizaako Obwakabaka ku lutabaalo luno.

Akulira UNAIDS mu Uganda era eyakiikiridde akulira ekitongole kya UNAIDS mu nsi yonna, Karusa Kiragu ategeezezza nti Omutanda bamwenyumirizaamu nnyo olw’okufaayo ku bantu be naddala ku nsonga y’ekirwadde kino.

Karusa asiimye Beene olw’omulamwa gw’omulundi guno ogwa, “Abaami ffe basaale mu kulwanyisa Mukenenya, kitaasa abaana ab’obuwala.” N’alaga nti gwongera okusikiriza abasajja okwenyigira mu lutalo luno.

Ono alaze okutya olw’abantu abawera olukumi abakwatibwa ekirwadde kino buli wiiki era n’alaga essuubi nti ku lw’eddoboozi lya Beene, omuwendo guno gugenda kukendeera.

Ssenkulu wa Uganda AIDS Commission, Dr. Nelson Musoba, annyonyodde nti abantu akakadde kamu n’ekitundu be balina ekirwadde kino mu ggwanga naye nga basuubira okukendeeza emisinde ekirwadde kino kwe kibakwatira.

Aba UNAIDS baliko engule gye bawadde Omutanda olw’omulimu gwaliko ogw’okulwanyisa ekirwadde kino mu Uganda n’ensi yonna.

Emisinde gino gyali gyakuddukibwa mu mwezi gwa April naye olw’embeera ya Ssennyiga Corona, Omutanda n’asiima giddukibwe olwaleero era asimbuleko abantu abatonotono ate abalala baddukire mu bitundu byabwe.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.