
Bya Shafik Miiro
Lubiri e Mengo – Kyaddondo
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde Abataka Abakulu Ab’Obusolya okulongoosa Embuga z’Ebika ng’emu ku ngeri y’okukuuma Obutondebwensi.
Omuteregga obubaka buno abutisse Omulangira Kassim Nakibinge abusomedde mu musomo gw’Abataka Abakulu Ab’obusolya ogubadde mu Lubiri e Mengo.
“Abataka musaanidde okubeera eky’okulabirako eri bazukkulu bammwe n’abantu abalala nga mukuuma obutaka bw’Ebika. Ebiggwa n’ebifo eby’enkizo mu buli Kika biteekeddwa okuteekebwateekebwa obulungi n’okubirwanirira ng’essira liteekebwa mu kukuuma Obutondebwensi” Kabaka Mutebi II.
Nnyinimu asiimye enteekateeka y’omusomo guno gw’agambye nti guyamba nnyo okujjukiza abantu obukulu bw’Ennono, Obuwangwa n’Empisa zaabwe ng’Abaganda. Era mu ngeri y’emu asiimye omulamwa gw’omusomo guno okuteeka essira ku kukuuma Obutondebwensi ng’agamba nti ensangi bukoseddwa nnyo.Ssaabataka mu bubaka bwe era asabye Abataka Abakulu Ab’Obusolya mu okukuuma obutiribiri emigga, ebisenyi, entobazi, ennyanja n’embalama zaayo ebiri mu bifo eby’enjawulo ku ttaka ly’Ebika ebitali bimu.

Wano era akuutidde abazukkulu okutwala byonna bye basomeseddwa nga bikulu era wabeewo ekikolebwa mu bwangu okutaasa Obutondebwensi.
Omulamwa gw’omusomo gw’omwaka guno, guli nti; “Obuwangwa n’Ennono ng’Omusingi ogw’okukuuma Obutondebwensi”









