
Bya Ssemakula John
Bunyoro
Ssaabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II, atenderezza obuzira bw’Omukama Chwa II Kabalega, ow’Obukama bwa Bunyoro, eyafa emyaka 100 egiyise, gw’agambye nti yalwana nnyo okutaasa Obwakabaka bwe n’abantu ku bufuzi obw’amatwale, okutuusa lwe yatwalibwa ku bizinga by’e Seychelles, mu buwanganguse.

Bino bibadde mu bubaka bwe obwetikiddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, eyakiikiridde Obwakabaka ku mukolo ogwategekeddwa Obukama bwa Bunyoro, okujjukira emyaka 100 bukya Omukama Kabalega ava mu bulamu bw’ensi oguyindidde ku ssomero lya Buyanja Secondary School, e Kibale.
“Tujjukira nokwegomba ekikolwa ky’obuzira ekyakolebwa omugenzi Jjajja we Ssekabaka Mwanga n’ Omukama Kabalega nga balwanyisa abafuzi b’ Amatwale nebatuuka n’okukwatibwa, nebaggalibwa mu bizinga bya Seychelles,” Ekiwandiiko kya Kabaka bwekisomye.

Omutanda annyonnyodde nti omukwano gwa Kabalega ne Ssekabaka Mwanga gulina okubeera empagi y’abantu ba Buganda ne Bunyoro okutambulira awamu.
Omukama Kabalega yafa mu mwaka gwa 1923 nga 6 Kufuumulampawu abafuzi b’Amatwale. Omukama Kabalega yalwanirira nnyo abantu be okukula mu byenfuna era yasibuula nnyo mu bawarabu ng’ono olulimi yali alumanyi.









