• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ssaabasajja Kabaka asisinkanye Ssenkulu wa UNESCO, asabye Amasiro gaggyibwe ku lukalala lw’ebifo ebyolekedde okusaanawo

Gambuuze by Gambuuze
June 13, 2023
in Amawulire
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka asisinkanye Ssenkulu wa UNESCO, asabye Amasiro gaggyibwe ku lukalala lw’ebifo ebyolekedde okusaanawo
0
SHARES
53
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Mmengo – Kyaddondo

Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asisinkanye Ssenkulu w’ekitongole ki UNESCO ekivunaanyizibwa ku by’obuwangwa n’ebintu eby’enkizo mu nsi yonna, Lazare Eloundou Assomo.

Ensisinkano eno eyindidde mu Lubiri e Mmengo ku Lwokubiri era wano Nnyinimu wasinzidde nasaba aba UNESCO baddemu okwekenneenya omulimu gw’okuzzaawo Amasiro gano wegutuuse.

“Njagala okusaba nti olw’okuba emirimu egisinga egy’ennono n’obuwangwa giwedde wakati mu kugoberera buli kimu ku mutindo gw’ensi yonna. Njagala UNESCO etunule mu ky’okuddamu okwekenneenya Amasiro gano agakyali ku lukalala lw’ebifo bya UNESCO ebyolekedde akatyabaga erabe embeera mwegali era egazze mu lukalala lw’ebifo ebyenkizo mu nsi yonna kweyali egatadde mu 2001,” Omuteregga bw’ategeezezza.

Kabaka annyonnyodde nti Obuganda bujja kuba busanyufu singa kino kinaakolebwa era okusaba kwa Buganda nekuyitamu mu lukungaana lwa UNESCO olw’omwaka 2023 olugenda okutuula mu September mu ggwanga lya Saudi Arabia.

Ssaabasajja Kabaka agambye nti wadde Buganda ewangaalira mu mbeera y’ebyenfuna etali nnungi naye bafuna essuubi bwebafuna obuyambi okuva mu bitongole nga UNESCO n’ebirala ebimanyi obukulu bw’ebifo eby’obuwangwa n’ennono. okubakwasizaako .

“Nga Buganda era ne Afirika tukkiriza nti tosobola kwawula buwangwa ku nkulaakulana. Okuzing’amya Obuwangwa bw’abantu mu ngeri yonna kisobola okubeera eky’obulabe ku nkulaakulana yabwe. Kino era kibeera kikontana ne Katonda eyatonda abantu n’obuwangwa obw’enjawulo,”

 Omutanda asiimye aba UNESCO, Gavumenti ya Japan, Gavumenti ya Uganda, n’ akakiiko akali ku mulimu gw’okuzzaawo Amasiro gano akakulemberwa Owek. Kaddu Kiberu olw’omulimu amakula.

Ssenkulu wa UNESCO , Lazare Eloundou Assomo, ategeezezza okuva lweyalinnye ku ttaka lya Buganda alabye abantu abasanyufu era abajjudde essuubi bwatyo neyeebaza Ssaabasajja Kabaka olw’obukulembeze obulungi era namusuubiza okutambulira awamu.

Lazare era yeebazizza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka olw’okukola kyonna okulaba nti Amasiro gano gakuumibwa

Kulwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ali ku mirimu emitongole ebunaayira, Omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase agambye nti abakulu bano bazze kulaba Bwakabaka webutuuse ku mulimu gw’okuzzaawo Amasiro gano.

Owek. Kaawaase annyonnyodde nti omulimu guno bagukoze bagoberera  buli kalonda era ebisigadde byakumaliriza mu kaseera akatono ddala  era kati amaaso bagatadde kwebyo ebirina okukolebwa oluvannyuma lw’okuzzaawo ennyumba Muzibu-azaalampanga.

Ssentebe w’Olukiiko oluli ku mulimu gw’okuzzaawo Amasiro gano, Owek. Kaddu Kiberu,  agambye nti Amasiro gano gamaze emyaka 13 okuva lwegakwata omuliro abantu babadde banyikaavu naye kati bangi bafunye akamwenyumwenyu olw’omulimu amakula ogukoleddwa.

Owek. Kiberu aweze mu maaso ga Nnyinimu nti omulimu gw’okuzzaawo Amasiro guno guwedde nga mu nnaku ntono gujja kuba gukwasibwa Omuteregga.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.