Bya Ssemakula John
Nairobi
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asisinkanye Pulezidenti wa Kenya Uhuru Kenyatta e Nairobi leero ku Lwokutaano.
Kabaka ne Uhuru boogedde ku ngeri ez’enjawulo Obwakabaka bwa Buganda gyebuyinza okukolagana n’Eggwanga lya Kenya naddala mu kutumbula embeera z’abantu.
Pulezidenti Uhuru akiggumizza nga Obwakabaka bwa Buganda bwebuli empagi mu kwegatta kw’amawanga ga East Africa.
Bino webigidde nga abantu naddala ku mutimbagano bavuddeyo n’amawulire ag’ensimattu nga Nnyinimu bweyawereddwa ekitanda.
Kino kyawalirizza Kamalabyonna Charles Peter Mayiga n’Omukubiriza w’olukiiko lw’abataka, Omutaka Kayiira Gajuule okugumya Obuganda nti Beene mulamu bulungi era nga alamula.
Minisita w’amawulire Noah Kiyimba anyonyodde nga e Kenya Beene bweyagenze ku mirimu.