
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri abantu be ku fayinolo y’omupiira gw’amasaza nga Buddu esamba Buweekula okuzuula Nnantameggwa w’ekikopo kino ow’omwaka 2021 ng’ennaku z’omwezi 5 Ogwokusatu omwaka guno.
Ekirangiriro kino kikoleddwa Minisita w’Obwakabaka avunaanyizibwa ku by’emizannyo, abavubuka n’okwewummuza, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu bw’abadde ayogerako eri bannamawulire leero mu Bulange e Mmengo.
“Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda ku kisaawe kya St. Mary’s e Kitende ng’ennaku z’omwezi 05/03/20221 ku ssaawa 9 ez’emisana ku mupiira ogwakamalirizo nga Bannabuweekula bakyaza Bannabuddu.” Owek. Ssekabembe bw’annyonnyodde.
Owek. Ssekabembe ategeezezza nti ekikandaaliriza fayinolo y’omulundi guno kwe. kuba nti baayagala okuwa bannabyamizannyo omukisa okubeera mu kisaawe ng’empaka ziggalawo oluvannyuma lw’okumala emyaka ebiri miramba nga tebakkirizibwa mu bisaawe.
Okusinziira ku Ssekabembe, wajja kusookawo omupiira okuzuula essaza erigenda okukwata ekifo ekyokusatu wakati wa Mawokota ne Bulemeezi ku ssaawa 6 ez’omu ttuntu.
Ono ategeezezza nti omupiira gw’akamalirizo guno gugenda kuba ku ssente emitwalo 2 n’emitwalo 5 era n’akunga abantu bonna okubaawo obugiriza Nnyinimu, wansi w’omulamwa,’ “Abasajja ffe basaale okulwanyisa Mukenenya tutaase abaana ab’obuwala.”
Buddu yaakawangula ekikopo kimu kyokka eky’empaka zino mu mwaka gwa 2016 ate nga Buweekula tewangula nga ku kikopo kino.
Ssentebe w’Olukiiko olutegesi olw’empaka z’amasaza, Sulaiman Ssejjengo ategeezezza nti omutindo gubadde gw’amaanyi nnyo mu mpaka zino era balonzeemu abazannyi 25 abagenda okukiikirira Buganda mu mpaka ezigenda okutegekebwa FUFA omwaka guno.
Ekikopo kino kyatandika mu mwaka gwa 2004 era Gomba y’ekyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi emingi ng’ekirina emirundi ate nga ye yasembayo okukiwangula mu mwaka gwa 2020.









