
Bya Ssemakula John
Masengere – Mmengo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda nga aggalawo Olukiiko lwa Buganda olwa 30 n’okuggulawo Olukiiko olwa 31 ku bbalaza ya Ssabbiiti ejja nga 21 ogw’omunaana.
Kino kibikuddwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwagga Mugumbule ku Lwokutaano bw’abadde ayanjula enteekateeka y’olunaku mu Masengere.
Owek. Mugumbule ategeezezza nti enteekateeka y’olunaku egenda kutandika mu butongole ku Ssaawa 5 ez’okumakya wabula abagenyi bonna basuubirwa okuba nga batuuse ku ssaawa 4 ez’okumakya.
Era bano abasabye okugoberera ennambika eyabategeezebwa wabula n’akkatiriza eky’omuwendo gw’abantu ogw’abategeezebwa okukiika nagwo ku lunaku olwo wakati mu kubasaba obutagusussa.
Sipiika Mugumbule wano asabye abanabaawo bonna okukwata obudde basobole okwaniriza Empologoma ya Buganda mu kitiibwa kyaayo era nakakasa nga baminisita abaggya Nnyinimu beyaakawa Obwami bwebasuubira okweyanza obukulu buno mu maaso g’Empologoma.
Okusinziira ku Owek. Mugumbule abakiise abaneetaba mu lukiino luno bonna bayite ba bbaluwa era naasaba abatayitiddwa obutagenda mu lukiiko luno okwewala okubataataganya.
Mu ngeri yeemu n’abantu abanaatuula ku kabanyi (gallery) nabo bayite nga kino kikoleddwa okusobola okuggyayo obulungi ekitiibwa ky’omukolo.
Abakiise abakadde wamu n’abaami abaggya, omukubiriza w’olukiiko abajjukizza okukuuma ebiseera n’okwenaanika ebyambalo ebiragaane Nnyinimu abasange nga bamwetegekedde bulungi.
Sipiika akunze Obuganda okwaniriza Omutanda eyo yonna gy’analambula mu ngeri esaanidde ate ey’obugunjufu.
Kinajjukirwa nti okuva Ssaabasajja lweyatuula ku Nnamulondo, Olukiiko lwa Buganda lwaddamu okutuula nga kati emyaka 30 nga terusirisizaamu era ebbanga lyonna Nnyinimui abaddenga asiima n’akulemberamu enteekateeka eno nga bweguli neku mulundi guno.









