Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye okulabikako eri obuganda ng’aggalawo empaka z’emipiira gy’amasaza ez’omwaka guno.

Minisita w’abavubuka, ebyemizannyo n’okwewummuzaamu, Henry Ssekabembe Kiberu, ategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka asiimye okubaawo ku ntandikwa y’omwezi gw’Ogwokusatu, ttiimu y’essaza Buddu ng’ettunka ne Ggomba, okulondako omuwanguzi waazo.
Bino Owek. Ssekabembe abyogeredde mu bimuli bya Bulange ku Lwokubiri bw’abadde atongoza fayinolo y’empaka z’omwaka guno.
“Njagala okutegeeza Obuganda bwonna nti Ssaabasajja Kabaka asiimye omupiira ogw’akamalirizo ogw’omwaka guno wakati wa bannaffe bannagomba nga basamba ne bannabuddu, gubeerewo ng’ennaku z’omwezi 6 March, 2021 ku ssaawa 9 zennyini ez’akawungeezi.”
Okusinziira ku Minisita Ssekabembe, omupiira guno gujja kuzannyirwa mu kisaawe kya St. Marys Stadiium e Kitende era wajja kusookawo okulwanira ekifo ekyokusatu wakati wa Bulemeezi ne Busiro.
Minisita Ssekabembe annyonnyodde nti bali mu kwogerezeganya ne Fufa awamu ne Minisitule y’ebyobulamu, basobole okukkirizaayo abantu abasaamusaamu era mu bwangu bajja kutegeeza Obuganda kye banaggyayo.
Owek. Ssekabembe agambye nti ensonga lwaki baasalawo okwongezaayo fayinolo y’empaka zino kyali lwakuba abazannyi baafuna obuvune obuwerako kuba emipiira gyali gya kumukumu, kwe kusaba akadde okusobola okujjanjaba abazannyi baabwe.
Owek. Ssekabembe asiimye obumalirivu n’omukwano ogwoleseddwa mu kutegeka empaka zino mu kadde ng’ekirwadde kya Ssennyiga Corona kifunze ekyonga mu ggwanga.
Agasseeko nti byonna bisobose olw’okwesigama ku kkampuni ezivugirira empaka zino okuli; Airtel, Centenary Bbanka, UNAIDS ne Kkampuni z’amawulire.
Ate ye Omuk. Remmy Kisakye okuva mu Airtel agambye nti kye baayagala okukola kwe kuddiza abantu nga bayitira mu mizannyo era ku luno baasalawo okwekwata amasaza kuba gakung’aanya abantu okuva mu nsonda ez’enjawulo.
Ono annyonnyodde nti amasaza gasobodde okukuza n’okuzuula ebitone ebipya ku mutendera gwa ttiimu y’eggwanga awamu n’abasambi okufuna ttiimu ennene mu nsi ez’enjawulo.
Asiimye Obwakabaka bwa Buganda olw’enkolagana ennungi n’okutuukiriza obweyamo bwabwo obw’enjawulo.
Akulira akakiiko akategesi ak’amasaza, Omuk. Sulaiman Ssejjengo, agambye nti okusobola okukuuma abantu nga balamu mu mpaka zino, bakebedde abantu abawerera ddala 540 omuli abazannyi n’abakungu ba ttiimu ez’enjawulo era abo be basanze nga balwadde babadde tebakkirizibwa kwetaba na balala.
Ye Ssenkulu wa Majestic Brand, Omuk. Ronald Kawaddwa, yeebazizza abavujjirizi ab’enjawulo okuli; Airtel, Centenary bbanka, UNAIDS, UNDP ne Nnaabagereka Development Foundation n’olw’okukwatizaako Obwakabaka okulaba ng’empaka zino zitambula bulungi.
Kinajjukirwa nti awangula empaka zino asitukira mu kikopo n’obukadde 12 n’emidaali egya Zzaabu, akwata ekyokubiri afuna obukadde 9 n’emidaali egya siliva ate owookusatu n’afuna obukadde 7 n’emiddaali egya Bronze olwo ate owookuna afuna obukadde 5.