• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda

Gambuuze by Gambuuze
October 5, 2021
in Amawulire
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda
0
SHARES
83
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ategeezezza Obuganda nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri abantu be ku lunaku lw’okukuza Bulungibwansi ne gavumenti ez’ebitundu nga  8/10/2021.

Katikkiro Mayiga  agamba nti omukolo guno gugenda kuyindira mu Lubiri e Mmengo ku Lwokutaano lwa wiiki eno wansi w’omulamwa  ogugamba nti, “Okunyweza Bulungibwansi kye kitiibwa ky’omwami.”

Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuwadde atongoza lukiiko olugenda okuteekateeka emikolo gy’olunaku lwa Bulungibwansi ne gavumenti ez’ebitundu leero ku Lwokubiri, e Bulange -Mmengo olw’okubaawo nga 8 Omwezi guno.

Mukuumaddamula asinzidde wano n’asaba abaami b’amasaza okwewala okukulembezanga ebitiibwa ate babeere bakozi mu buweereza bwabwe ku buli mutendera eri Obwakabaka.

“Okuva edda yonna, ekitiibwa ky’omwami kyapimirwanga ku ngeri gy’akolamu emirimu. Bw’obeera Minisita, Owessaza, Oweggombolola oba Owoomuluka, oba n’obuvunaanyizibwa bunene, naye ekitiibwa ekyanamaddala tekiri mu ntebe mwe tutuula, naye kipimirwa ku ngeri gy’okolamu emirimu egyakukwasibwa.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga abaami b’amasaza abakubirizza  okukunga abantu okukola beewale okugggwaamu n’ebintu ebitono era batumbule Bulungibwansi kuba agendereddwamu kulaba ng’ebitundu bya Buganda bikulaakulana mu ngeri ezitali zimu.

Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti ebya Buganda okufuna obwetwaze nga 8/10/1962  si biyiiye kuba omukolo gwaliwo n’ebiwandiiko bikiraga. Era twasalawo gufuuke gwa Bulungibwansi kuba enkola eno ye yayitimusa Buganda.

Olukiiko olulondeddwa lukulirwa Owek. Mariam Mayanja Nkalubo,  amyukibwa Owek. Christopher Bwanika owa Gavumenti ez’ebitundu, Omubeezi we ye Kago Agnes Nakibirige Ssempa era kuliko n’abantu abalala abagenda okubayambako.

Kamalabyonna Mayiga asinzidde wano n’ategeeza nga Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda ku lunaku luno.

Ssentebe w’olukiiko olulondeddwa, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo Nassejje, yeeyamye ku lwa banne nti newankubadde ng’ennaku ziweddeyo, bagenda kukola omukolo oguweesa empologoma ekitiibwa.

Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa, wagenda kubaawo okusimba emiti, okukola bulungibwansi eggombolola zonna, kyokka ng’omulaka gwakussibwa ku kkubo erigenda ku Mbuga y’essaza Kyaddondo.

Ng’ennaku z’omwezi 7, wagenda kubaawo omusomo ku Federo, omusomo gwokukuuma obuyonjo n’okwawula kasasiro wakati mu kufaayo ku butonde bw’ensi.

Olwo nga 8 October, ekibanyi kigwe n’amanvu mu Lubiri  e Mmengo ewagenda okuba entikko y’emikolo. Kyokka nga n’eggombolola zisabiddwa okulujaguza wakati mu kwetangira Ssennyiga Corona.

Kinajjukirwa nti Buganda ejaguza olunaku lwa 8 October buli mwaka,  okujjukira olunaku Buganda lwe yafunirako obwetwaze okuva ku Bungereza nga luno  lwaweebwayo okukolerako Bulungibwansi wonna mu Buganda.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.