• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda nga aggulawo emipiira gy’Amasaza 2021

Gambuuze by Gambuuze
November 17, 2021
in Amawulire, Ebyemizzanyo
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda nga aggulawo  emipiira gy’Amasaza 2021
0
SHARES
81
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ategeezezza nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda ku Lwomukaaga luno era aggulewo emipiira gy’Amasaza egy’omwaka guno 2021.

Bino Owek. Nsibirwa abyogeredde mu Bulange bw’abadde atongoza empaka zino ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga n’asaba abantu okwaniriza Nnamunswa ku lunaku olwo era bayambeko ne ttiimu zaabwe okweteekateeka.

“Mbategeeza mwenna abali wano wamu n’abatulaba ku Terefayina  nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka asiimye alabikeko eri Obuganda nga 20 ku Lwomukaaga luno n’omupiira ogugenda okutandikirwako wakati wa Kyaddondo ne Gomba.” Owek. Nsibirwa bw’agambye.

Owek. Waggwa ategeezezza nti empaka zino zimanyiddwa okuleetawo okutabagana wakati w’abantu ba Kabaka kuba zizannyibwa abantu abali mu bitundu ebyo nga si nsonga baganda oba nedda.

Okusinziira ku Owek. Waggwa, okweteekateeka mu masaza ag’enjawulo kubadde mu masaza agatali gamu ng’abakwatibwako obutereevu babanguddwa era waliwo n’ebitone ebizuuliddwa awamu n’okufuna emirimu nga byonna bibala by’amasaza.

Owek. Nsibirwa agambye nti ku mulundi guno balina bye bagenda okwesibako nga mwe muli okunyweza obumu mu bantu ba Kabaka nga bakulembeza ebibagatta ng’emipiira gy’Amasaza awamu n’okusaba abaami okukola buli ekisoboka okutaasa abaana aboobuwala ku kirwadde kya Mukenenya.

Ku nsonga y’obutebenkevu mu ggwanga, Owek. Nsibirwa asabye bannayuganda okumanya nti tebalina ndowooza yeemu era beewale obutujju era bakkakkanye ku busungu era beekengere n’okutebuka abalabe bonna abasobola okubatuusaako obulabe wabula basigale nga bavumu basobole okutambuza emirimu.

Owek. Waggwa Nsibirwa agamba nti ekiseera kituuse gavumenti ya Uganda ku bigambo ebingi byeyogera egatteko amaanyi kisobole okukomya omuze gw’abatujju abamalawo obulamu bwa bannayuganda.

Ate Minisita Ssekabembe asabye abazannyi mu ttiimu z’Amasaza ez’enjawulo okukozesa omukisa guno ogubaweereddwa Ssaabasajja Kabaka okutumbula ebitone byabwe mu kusamba omupiira basobole okwekulaakulanya.

Minisita w’abavubuka n’ebyemizannyo, Owek. Ssekabembe asiimye bannamikago olw’obuwagizi bwe bawadde  Obwakabaka mu kikopo ky’Amasaza ebbanga lyonna ne mu kiseera ng’ekirwadde kya Corona kizing’amizza ebyenfuna naye ne basigala ku mulamwa okukyusa embeera z’abantu ba Kabaka.

Owek. Ssekabembe annyonnyodde nti omuwanguzi w’ekikopo ky’Amasaza agenda kwewangulira obukadde bwa ssente 12, owookubiri afune obukadde 9 ate owookusatu aweebwe obukadde 7 ate anaasinga banne okulengera obutimba aweebwe emitwalo gya ssiringi 30.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.