
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ategeezezza nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda ku Lwomukaaga luno era aggulewo emipiira gy’Amasaza egy’omwaka guno 2021.
Bino Owek. Nsibirwa abyogeredde mu Bulange bw’abadde atongoza empaka zino ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga n’asaba abantu okwaniriza Nnamunswa ku lunaku olwo era bayambeko ne ttiimu zaabwe okweteekateeka.
“Mbategeeza mwenna abali wano wamu n’abatulaba ku Terefayina nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka asiimye alabikeko eri Obuganda nga 20 ku Lwomukaaga luno n’omupiira ogugenda okutandikirwako wakati wa Kyaddondo ne Gomba.” Owek. Nsibirwa bw’agambye.
Owek. Waggwa ategeezezza nti empaka zino zimanyiddwa okuleetawo okutabagana wakati w’abantu ba Kabaka kuba zizannyibwa abantu abali mu bitundu ebyo nga si nsonga baganda oba nedda.
Okusinziira ku Owek. Waggwa, okweteekateeka mu masaza ag’enjawulo kubadde mu masaza agatali gamu ng’abakwatibwako obutereevu babanguddwa era waliwo n’ebitone ebizuuliddwa awamu n’okufuna emirimu nga byonna bibala by’amasaza.
Owek. Nsibirwa agambye nti ku mulundi guno balina bye bagenda okwesibako nga mwe muli okunyweza obumu mu bantu ba Kabaka nga bakulembeza ebibagatta ng’emipiira gy’Amasaza awamu n’okusaba abaami okukola buli ekisoboka okutaasa abaana aboobuwala ku kirwadde kya Mukenenya.
Ku nsonga y’obutebenkevu mu ggwanga, Owek. Nsibirwa asabye bannayuganda okumanya nti tebalina ndowooza yeemu era beewale obutujju era bakkakkanye ku busungu era beekengere n’okutebuka abalabe bonna abasobola okubatuusaako obulabe wabula basigale nga bavumu basobole okutambuza emirimu.
Owek. Waggwa Nsibirwa agamba nti ekiseera kituuse gavumenti ya Uganda ku bigambo ebingi byeyogera egatteko amaanyi kisobole okukomya omuze gw’abatujju abamalawo obulamu bwa bannayuganda.
Ate Minisita Ssekabembe asabye abazannyi mu ttiimu z’Amasaza ez’enjawulo okukozesa omukisa guno ogubaweereddwa Ssaabasajja Kabaka okutumbula ebitone byabwe mu kusamba omupiira basobole okwekulaakulanya.

Minisita w’abavubuka n’ebyemizannyo, Owek. Ssekabembe asiimye bannamikago olw’obuwagizi bwe bawadde Obwakabaka mu kikopo ky’Amasaza ebbanga lyonna ne mu kiseera ng’ekirwadde kya Corona kizing’amizza ebyenfuna naye ne basigala ku mulamwa okukyusa embeera z’abantu ba Kabaka.
Owek. Ssekabembe annyonnyodde nti omuwanguzi w’ekikopo ky’Amasaza agenda kwewangulira obukadde bwa ssente 12, owookubiri afune obukadde 9 ate owookusatu aweebwe obukadde 7 ate anaasinga banne okulengera obutimba aweebwe emitwalo gya ssiringi 30.









