Bya Najib Nsubuga
Lwadda – Kyaddondo.
Ssaabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye obuweereza bwa Ssebuganda Namuguzi omubuze, Omutaka Ndawula Wilson, bw’akoze mu kika kye Mpologoma ne Buganda okutwalira awamu. Obubaka bwa Beene busomebbwa Minisita we ow’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda, Oweek. Anthony Wamala, ku mukolo gw’okutereka omubuze ku butaka bw’Ekika kye Mpologoma e Lwadda mu Kyaddondo. Wammanga bwe bubaka bwa Beene mu bujjuvu.
“Twawulidde n’ennaku nnyingi amawulire ag’okufa kw’Omutaka Ssebuganda Namuguzi, Wilson Ndawula. Kitalo nnyo! Tusaasidde nnyo bamulekwa, abooluganda, abako n’emikwano olw’okuviibwako mukadde wammwe. Mu ngeri y’emu, tukubagiza Ekika ky’Empologoma olw’okuviibwako Jjajjaabwe.
Mu ngeri ey’enjawulo, tusaasira Abataka Abakulu ab’Obusolya olw’okufiirwa muganda waabwe. Omugenzi atuukirizza obuvunaanyizibwa bwe mu Bwakabaka era akulembedde bulungi ekika ky’Empologoma. Twebaza abo bonna abamujjanjabye n’okumulabirira mu kiseera ky’amaze nga mulwadde. Twebaza Katonda olw’obulamu bwe ne byonna bye yamukozesa. Tusaba Mukama abagumye mu buyinike n’Omugenzi amuwe ekiwummulo eky’emirembe” Ronald Muwenda Mutebi II, Kabaka.
Omukolo gw’okutereka omubuze gwetabiddwako Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n’Abagenyi, Oweek. Noah Kiyimba, Omubaka Omukyala owa Wakiso Hon. Betty Ethel Naluyima, Oweek. Alhajj Amb. Prof. Badru Kateregga Ddungu, Bakatikkiro b’ebika abalembeddwa Katikkiro wa Kiggye Omw. Waggala Lubanga, Abaamasiga mu kika kye Mpologoma, abeemituba, abakulembeze okuva mu bika eby’enjawulo wamu n’abazzukulu.
Omutaka Wilson Ndawula yabula nga 15 Muwakanya, 2024, mu ddwaliro ekkulu e Mulago. Omutaka aterekeddwa ku butaka bw’ekika e Lwadda mu nnono n’obulombolombo bw’ekika, Buganda ko n’obulombolombo bw’okutereka Abataka. Omubuze aterekeddwa mu mbugo 168. Abadde aweza emyaka 50.