Bya Ssemakula John
Kireka – Kyaddondo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye n’agemebwa ekirwadde kya Ssennyiga Corona awamu ne Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda.
Kabaka abakugu bamusanze mu Lubiri lwe e Kireka enkya ya leero ku Lwokutaano. Kino kikakasiddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Twitter.
Abakugu bano bakuliddwa Dr. Simon Luzige owa Nakasero Hospital erisangibwa wano mu Kampala.
Kino kiddiridde Beene okulabikako eri Obuganda ku lunaku lw’okujaguza amazaalibwa ge mu Lubiri e Mmengo.
Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda ategeezezza nti basazeewo okwegemesa Ssennyiga Corona kibayambe okwekuuma obulungi singa akawuka kabatuukako.
“Oluvannyuma lw’okwetegereza ensonga zonna ezeetoolodde akayiso kano n’eddagala lino, twasazeewo nti naffe tukafune.” Bw’atyo Nnaabagereka Nagginda bw’ategeezezza oluvannyuma lw’okugemwa.
Nnaabagereka Nagginda akunze abantu okweyunira okugemebwa kiyambe omubiri gwabwe okulwanyisa ekirwadde kino singa kibeera kibakutte.
Kinajjukirwa nti Beene bwe yabadde ku mazaalibwa ge ag’emyaka 66 mu Lubiri e Mmengo, yalagidde okwewala ekirwadde kya Ssennyiga Corona kuba kikyali kingi mu bantu.