
Bya Francis Ndugwa ne Ronald Mukasa
Makerere – Kyaddondo
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naatongoza ekkadiyizo lya Muteesa II ku ssettendekero wa Makerere era neyeebaza abalikulira olw’okukola ennyo nebatumbula ennimi ennansi nga n’Oluganda mw’olutwalidde.
Obubaka buno Nnyinimu abutisse Nnaalinya Lubuga, Agnes Nabaloga ku mukolo gw’okuggulawo ekkadiyizo lya Muteesa II e Makerere wamu n’okujaguza olunaku lw’ennimi ennansi mu nsi yonna ssaako n’emyaka 34 egya Nkobazambogo.
Kabaka Mutebi era asiimye naawaayo ebimu ku bifaananyi bya Ssekabaka Edward Muteesa II ebyamukubwa mu kiseera nga muyizi ku Ssettendekero ono mu mwaka 1943 -1945 biteekebwe mu nnyumba eno mweyasulanga nga kati yaddaabiriziddwa nefuuka ekkadiyizo.
Ccuucu asiimye omulimu ogukoleddwa ku nnyumba eno nategeeza nti kano kabonero kalungi akalaga enkolagana wakati wa Ssettendekero ono ne Buganda.
Omukolo guno gujjidde mukiseera nga Uganda wamu n’ensi yonna bakuza olunaku lw’ennimi ennansi olwa International Language Mother Day .
Beene asabye abantu okwongera amanyi mukwagala obuwangwa bwabwe nenono nasaba abakulembeze kumitendera egy’enjawulo okwagaziisa abavubuka ennimi ennansi kubanga bebagenda okubeera abakulembeze ab’enkya .
Ye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde wano nategeeza nti amasomero galina okwongera amaanyi mukwagazisa abayizi okwogera ennimi ennansi kubanga ziyamba kinene nnyo ku ntegeera y’abayizi.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti abantu bwebasomesebwa mu nnimi zebategeera ebintu bisigala mu mitwe so nga bwekituuka kwebyo ebibagambiddwa mu nnimi zabwe ennansi babiterekera ddala mu mitima gyabwe.
Owek. Mayiga agamba nti kino kiraga nti ennimi ennansi zezifuga ebirowoozo n’emeeme era kya bugagga ekimu ku bisinga okubeera eby’omuwendo.
Ono era asinzidde wano nalaga ng’ ekibiina ki Nkobazambogo bwekiwezezza emyaka 34 era wano yeebazizza olw’omulimu ogukoleddwa aba Nkobazambogo okubangula abaweereza n’abakulembeze kumitendera egy’enjawulo mu Bwakabaka n’eggwanga lyonna.
Mayiga agamba nti singa wabaawo okussa ekitiiibwa mu buwangwa n’ennimi z’abantu abalala wabaawo emirembe n’obumu bwatyo nasaba wabeewo okuwang’ana ebitiibwa okusobola okulaakulanya Buganda.
Amyuka Cansala wa Makerere, Prof. Barnabas Nawangwe ategezezza nti ennyumba eno ya byafaayo nnyo mu Ssetendekero wa Makerere nagamba nti yakubayamba n’okwongera ku nsimbi ez’okuddukanya emirimu gya Ssettendekero.
Omukolo guno gwetabiddwako , Omulangira David Kintu Wasajja , baminisita mu Gavumenti ya Ssaabasajja , abaddukanya Ssetendekero wa Makerere n’abakulembeze abalala kumitendera egy’enjawulo.









