
Bya Francis Ndugwa
Bulemeezi
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asaasidde ab’enju y’Omugenzi Hajji Ibrahim Sseguya eyavudde mu bulamu bw’ensi eno gyebuvuddeko.
“Tusaasidde nnyo ab’ennyumba y’Omugenzi, ab’oluganda, Abako n’Emikwano olw’okuviibwako mukadde wammwe” Omutanda bw’ategeezezza.
Omugenzi abadde mukiise mu Lukiiko lwa Buganda. Era Nnyinimu amwogeddeko ng’omuntu abadde ayagala ennyo Obwakabaka era omuwulize eri Nnamulondo akoze obulungi emirimu gye.
Beene ategeezezza nti Obuganda bwebaza Katonda olw’obulamu bwe nabyonna byasobodde okumukozesa.
Ccuucu asabye Omukama agumye ab’enju y’omugenzi mu buyinike bwebalimu era omugenzi amuwe ekiwummulo eky’emirembe.










