
Bya Francis Ndugwa
Kasubi – Kyaddondo
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nalambula omulimu gw’okuzzaawo ennyumba ya Muzibuazaaalampanga mu masiro e Kasubi wegutuuse era nasiima omulimu ogukoleddwa.

Omutanda Amasiro gano agalambudde ku Mmande nga alambuziddwa Katikkiro w’amasiro g’e Kasubi David Nkalubo nga ayambibwako Abaggiriinya wamu n’abakugu abali ku mulimu gw’okuzaawo amasiro gano.
Mu kulambula kuno, Nnyinimu alambudde ennyumba Muzibwazaalampanga, ebyuma ebizikiriza omuliro n’enkozesa yaabyo, ttanka z’amazzi, n’ennyumba Bujjabukula.
Omuteregga asiimye abo bonna abaakwasibwa omulimu gw’okuzzaawo amasiro gano omuli nategeeza nti omulimu ogukoleddwa gusanyusa era nga gutuukana n’omutindo.

Ssaabasajja asiimye Abagiriinya olw’omulimu gwe bakoze oguweesa Obwakabaka ekitiibwa.
Yebaziza ne Gavumenti ya Japan olw’okuwaayo ebyuma ebizikiriza omuliro eby’omulembe.
Bino webijjidde nga omulimu gw’okuddaabiriza Amasiro gano guli ku mutendera ogusembayo era nga gasuubirwa okukwasibwa Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka mu bwangu.









