Bya Ssemakula John
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga abuulidde Obuganda nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwe yakomyewo okuva mu ggwanga lya Germany gye yali agenze ku mirimu emitongole awamu n’abasawo abakugu okwongera okumwekenneenya.
Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire lw’atuuzizza e Bulange- Mmengo ku Mmande, n’asaba abantu okwongera okusabira Nnyinimu.
“Omutanda yakomawo ekiro ekyakeesa Olwomukaaga, we njogerera ateredde ntende mu Lubiri lwe alamula Obuganda. Ekyamutwala zaali nsonga bbiri; okusisinkana bannamikago be tukolagana nabo ku nsonga n’emirimu gya Kabaka Foundation. Ensonga eyookubiri kwali okwongera okwekebejjebwa abasawo.”
Owek. Mayiga annyonnyodde nti abasawo abakugu Omutanda baamwekebejja era n’asaba abantu okumanya nti ensonga z’obulamu bwa Beene zikwatiddwa mu ngeri ya buvunaanyizibwa kuba embeera mw’ali eyongera okutereera.
Owek. Mayiga era annyonnyodde nti olugendo lwa Kabaka, aba Kabaka Foundation baaluganyuddwamu nnyo kuba bannamikago baasuubizza okwongera okuwaayo obuyambi eri abaana n’abavubuka ababeera mu nzigotta.
Okusinziira ku Katikkiro Mayig, kati ekitongole kya Kabaka Foundation kigenda kuyambako okuvumbula ebitone mu baana bano, basobole okukyusa obulamu era basomesebwe ennyingo eziri mu buntu bulamu mu kaweefube w’okukyusa obulamu bwabwe.
Katikkiro Mayiga asabye bannabuddu awamu n’abantu abalala okujjumbira enteekateeka z’okugaba omusaayi wansi w’enteekateeka y’amasaza eyatongozebwa Nnaabagereka, okusobola okutaasa abo abagwetaaga.
Ku nsonga y’ekizimbe ekyagudde mu Kisenyi, Owek. Mayiga asaasidde abaafiiriddwa abaabwe n’ebintu byabwe awamu ne Nnanyini kizimbe. Ono asabye KCCA okulondoola ebizimbe ebibeera bizimbibwa kuba birabika bizimbibwa ku mutindo ogutali mutuufu.
“Tusaba KCCA etunuulire pulaani z’ebizimbe n’eriiso ejjogi era yeekenneenye omutindo gw’Abayinginiya abakulira okubizimba.” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.