• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ssaabasajja Kabaka ajaguzizza  emyaka 30 ng’ alamula Obuganda

Gambuuze by Gambuuze
July 31, 2023
in Amawulire
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka ajaguzizza  emyaka 30 ng’ alamula Obuganda
0
SHARES
74
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Lubiri – Mmengo

Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, atuuse mu Lubiri e Mmengo ku ssaawa 5:30 wakati mu nduulu okuva mu bantu be n’okusindogoma kw’engoma.

Omukolo guno ogw’okujjukira emyaka 30 egy’Amatikkira gegasoose okubaako abantu bonna bukya ggwanga liva ku muggalo gwa ssenyiga lumiima mawugwe.

Ccuucu asoose kutuukiriza nnono enkulu ey’omukolo guno, eyokulamusa Mujaguzo wakati w’okukubirwa emizira okuva mu bantu be.

Oluvannyuma bazzukulu ba Jjajja Kayiira ab’embogo bamukongoze nalamusa ku bantu be ababadde bakung’aanye.

Era kino bwekiwedde ateredde ku Nnamulondo olwo emizinga 30 gikubiddwa nga akabonero akakaatiriza emyaka 30 egy’ekkula lino.

 Omutanda wano era asiimye empomerezi eyiisibwa seruti efuuke amawa era bwatyo nanywako

Emparabwa, esiimye abo abeenyigira obutereevu mu kawefube w’okuzzaawo essanyu ly’ Abaganda, omwali abalangira, abambejja, nabantu babulijjo, abamu ku bbo nebalugulamu nobulamu. Yeebazizza naabo abewaayo nebakola obwannakyewa nga obwakabaka buzzeewo.

Kabaka alagidde abantu be nti Obwakabaka okuba nga webuli tekibeeyibaaza, bateekeddwa okutunula enkaliriza kubanga waliwo abatabwagaliza.

Obwakabaka bwa Buganda, okuyita mu by’enjigiriza, emizannyo, ebyobulimi, eby’obulamu nenteekateeka endala bukyusizza embeera zabantu ba beene.

Wano omutanda wasinzidde, naddamu okubanja gavumenti federo, singa enkola eno ebaddewo, enkulaakulana yandibadde wala nnyo.

Maaso moogi, omulundi ogusookedde ddala, avuddeyo kunsonga yabankuba kyeyo nalagira abantu be, okwesamba enkola yokuddukira ebweru okukola emirimu egibaviiriddeko okubonyabonyezebwa nabamu okufa, kubanga ababawa emirimu egyo tebabaagaliza.

Ku matikkira gano, Beene abavubuka tabaleseeyo kubanga kati emyaka 30 nga omulembe gwe agubakwasizza era enteekateeka nnyingi essira kwerisimbye.

Abakuutidde okwewala okwetundako ettaka mbu bayayaanira kusengukira mu bibuga. Agamba enkulaakulana ejja kubasanga gyebali kubanga teri kyamuwendo kisinga ttaka.

Kabaka era alagidde gavumenti  esalire abantu abali ku Nnyanja amagezi kuba bano basusse okugobaganyizibwa n’okutulugunyizibwa.

Omulembe omutebi guwezezza emyaka 30 bwatyo nyinimu asuubizza obuganda nti emirimu gitandika butandisi.

Omutanda asiimye nagabula obuganda, era naddamu okulamusa ku Mujaguzo era wano abayimbi ab’enjawulo okubadde Hilderman, Pallaso n’abalala bagenze mu maaso n’okusanyusa abantu be.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.