Ssaabasajja Kabaka agguddewo Olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 27 wali mu Bulange Mengo, Baminisita ba Kabaka beyanziza obwami obwabawebwa.
Ssaabasajja Kabaka asabye abakulu b’ebika okweteekateeka obulungi abantu basobole okulambula obutaka bwabwe n’okumanya embeera gyebulimu n’okulaba engeri Obwakabaka gyebuyinza okukulaakulanyamu obutaka buno. Era wano Beene akubirizza abazzukulu okukwatizaako bajjaja baabwe ku nsonga y’okuteekateeka obutaka bwabwe. Omutanda azemu okutegeeza abakiise awamu n’Obuganda bwonna ku bukulu bw’obwegassi mu mirimu gyaffe, era n’abakubiriza okwongera okulima emmwanyi awamu n’ebirime ebirala eby’ettunzi.
Omutanda asiimye omubaka we mu bitundu bye Bungereza ne Ireland Ronald Lutaaya wamu n’aba Buganda Heritage Association abaakola enteekateeka y’ekipande ekitongole ekyateekebwa ku nnyumba Ssekabaka Muteesa gyeyasulangamu okuva mu 1968 okutuuka mu November 1969.
Omutanda asiimye Baminisitaa be abaawummula wamu n’abaggya era nabaagaliza obuweereza obulungi mu lukiiko luno olwa 27. Ba Minisita ab’eyanziza obwaami kuliko Owekitiibwa Christopher Bwanika era nga ono kati ye Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Owekitiibwa David Kyewalabye Male kati nga Minisiter wa Buganda w’Obuwangwa, Obulambuzi n’Embiri awamu ne Owekitiibwa Sheikh Abbas Nsubuga era nga ono agenda kukulembera abantu ba Ssaabasajja Kabaka mu Bendobendo ly’Ebuwarabu.